Nga Uganda yegasse ku nsi yonna okwefumiitiriza ku lunaku lw'Abaana olwa leero nga 20 November, 2026 abakulembeze b'Ennono mu kitundu kye Sebei bategeezezza nti omuze gw'Okukecula Abaana Abawala gukendedde mu Uganda,wakati mu bikwekweeto ebikolebwa emisana neekiro.
‎
‎Bwabadde ayogererako mu nsisinkano Abaana abato mwebayise okukubaganya ebirowoozo ku kityoboola Ddembe lyaabwe n'okukisalira amagezi , Omwogezi w'olukiiko lw'Olobukulembeze bw'Abasebei, Samuel Yeko agambye nti olw'amateeka agali yaddeyaddeko ebiro bino embeera y'okukecula abaana abawala egenze ekkira ddala.
‎
‎
‎Yeko era ategeezezza nti ebirala ebitadde obunkenke mu Kapcholwa bebaana abato okukkakkana ku Mwenge, ebiragalalagala nebirala bingi, ebibaviirako okuyingira obufumbo nga tebeetegese.
‎
‎
‎Dr.Robin Nandy nga y'akulira UNICEF mu Uganda, agambye nti okulwaanyisa abakola ebikolobero ku baana kusaanidde kwongerwemu amaanyi mangi, Abaana beeyagalire mu kubeera abaana.

‎
‎
‎Dr. Nandy asabye buli eyateeka omukono ku tteeka eriwa abaana eddembe lyabwe ajjukire bulungi obweyamo bweyakola, abutuukirize.
‎
‎Ssentebe wa district ye Kapchorwa Vincent Cherimo agambye nti ku bikwekweeto ebikolebwa ebiro bino, mukakafu nti ebikolwa by'okukecula  abaana bigenda kukoma.
‎
Bisakiddwa: Kato Denis