Government ya Uganda eggaddewo ensalo zaayo ne Democratic Republic of Congo, okutangira abacongo okuyingira Uganda , okweetaba ku mikolo gyÓkuwerekera Omukama wa Tooro Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV , nÓkumukungubagira okugenda mu maaso mu kikaali kye Karuzika.
Ministry yÉbyobulamu yetadde ekiragiro kino mu nkola, olwa alipoota eziraga nti abantu abasoba mu 3000 bebaakafa ebola, ku bantu 6000 abaakakwatibwa Ebola mu DRC.
Ministry ya Uganda ey'ebyobulamu egamba nti wakyaliwo okutya nti abakungubazi okuva e Congo bandiba nga bakyalimu ekirwadde kya Ebola ekibadde kikyagoya amawanga gombi, wadde nga mu Uganda kyalangirirwa nti tekikyaliwo.
Ministry yÉbyobulamu etegeezezza nti government ya Uganda ng'ekolaganira wamu nÓbukama bwa Tooro, yaakuwa aba Congo Omuyungiro (Link) kwebagenda okuyita, okugoberera buli kinaaba kigenda mu maaso e Karuzika.
Omwogezi wa ministry yÉbyobulamu Emmanual Ainebyona ategeezezza CBS nti ekiragiro kino kitandikiddewo okuteekebwa mu nkola.
Omuhiikirwa wa Tooro Armstrong Calvin Akiiki Rwomiire asabye Abatooro bonna abali e Congo okusigala nga bakkakkamu , kuba ekiragiro ekiyisiddwa kizze lwa bulungi bwa ggwanga.
Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV yava mu bulamu bw'ensi nga 28 August,2026, agenda kutabaazibwa nga 12 September,2026.
Comments (4)
Leave a Comment