Akawumbi ka shilling za Uganda kamu n'Obukadde 32 n'emitwaalo 52 zezikungaanyiziddwa ku kijjulo ekutegekeddwa okumaliriza ekizimbe Archbishop Kiwanuka empowerment center e Kitovu.

Ekizimbe kino Omulimu gw'okukizimba gwatandika mu mwaka 2022 ku Lutikko e Kitovu Masaka mu Buddu n'ekigendererwa eky'Okujjuukirirako Obuweereza obusukkulumu obwaali Obwa ssabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka  eri Eklezia eyawamu n'eggwanga Uganda.

Omusumba w'Essaza erye Masaka  Silverus Jjumba era nga ye Ssentebe w'Entekateeka y'Okuzimba ekizimbe ekyo, asinzidde ku kyeggulo ekitegekeddwa ku Sheraton Hotel mu Kampala, n'ategeeza nti ekizimbe kino kigenda kubaako ebirungi nkumu , era nga kizimbibwa  mubbwerufu, neyeebaza bonna abawagidde Omulimu ogwo.


Ssabasumba w'Essaza ekikulu erye Kampala Kitaffe Paul Ssemoogerere nga Obubaka bwe obw'Obukadde 10 eri Omulimu guno abutisse Ssabasumba Augustine Kasujja, yeebazizza omusumba Jjumba olw'Okujjukira Omugenzi Ssabasumba Kiwanuka, eyafuba okutumbula enkulaakulana mu buli kintu.

Amyuka Ssentebe w'Olukiiko oluzimba ekizimbe ky'Ekijjukizo era Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, agambye nti Ssabasumba Kiwanuka teyakotoggerako nkulaakulana ya Eklezia eri bannansi bonna, n'amweebaza olwebirungi enfofoolo byeyakola.


Katikkiro mungeri eyenjawulo yebazizza Ssabasumba Kiwanuka, olw'Okufuba okulaanyisa Obwavu mu Bantu, ate nga yali mulungamya ku nsonga z'Ebyobufuzi.


Katikkiro w'Ekika ky'Engabi Enyunga, era nga ye Ssentebe wa Nyunga Foundation Steven Muyunga, adduukiridde Omulimu guno n'Obukadde 20 million n'Ensawo za cement 100, naasaba Abantu ba Katonda obutakoowa kukwasizaako Eklezia.

Bisakiddwa: Denis Kato