Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll asiimye enteekateeka zonna ezikolebwa abataka zitambulire ku kubangula abazzukulu amakulu g’Amaka, okunnyikiza Obuwangwa n’ennono.

 

Obubaka buno  Ssabasajja Kabaka abutisse omumyuka asooka owa Katikkiro wa  Buganda Owek Hajji Twaha Kawaase Kigongo, mu  kuggalawo omusomo gw’Abataka abakulu aboobusolya   gwe bategekera  abazzukulu buli mwaka mu Lubiri lwe e Mengo.

Omusomo gw’omwaka guno 2025  gutambulidde ku mulamwa ogugamba nti “Amaka ye Mererezo y’Obuntu.

 

Ssabasajja Kabaka  agambye nti abakulu b’Obusolya basaanidde okunnyikizanga obukulu bw’Amaka okuyamba abazzukulu okwewala ebireeta obutabanguko mu maka.

 

Olukiiko lw’Abataka Abakulu b’Obusolya nga lukulembeddwamu Omukubiriza walwo Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, lusiimye Ssalongo Kizito Tabula amanyiddwa nga VJ Jingo, olw’okutumbula olulimi Oluganda okuyita mu kitone ky’okivuunula Film, era aweereddwa ekirabo.

 

Minister w’Obuwangwa Ennono ,Obulambuzi n’Embiri Owek Anthony Wamala ategezezza nti bingi abantu byebatamanyi ku buwangwa n’ennono, era asabye watekebwowo enkola okubangula ng’abantu okuyita ku mikutu gya Buganda egy’amawulire .

 

Abakugu mu nsonga z’amaka wamu n’enkuza y’abaana okubadde Kojja Ssali Damascus,Rev Fr Gerald Yiga ,Hajji Serwanga Kyambadde Sulaiman ,Simon Ssenkaayi n’abalala babangudde abazzukulu ku bintu ebyenjawulo.

 

Abazukulu abetabye mu musomo guno bategezezza nti bingi byebayize mu musomo guno byebagenda okuteekesa mu nkola okubeera n’amaka amalungi.

 

Omusomo guno gwaguddwawo mu butongole Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere, obubaka bwe abutisse Vicar General w’essaza ekokulu erya Kampala Rev Fr Msgr Gerald Kalumba era nga yasabye abazadde okugunjula abaana mu mpisa eyobuntu, nga batambula nabo, nga bamanya ebibasoomoza nebabinogera ebizibu, okubayamba okukula nga tebeetya.

 

Mu musomo guno Bajjaja abataka abakulu ab’obusolya  mwebatongolezza ekitabo kyebatuumye  Amaka era nebasaba abazzukulu okukigula okutereza Amaka.

Omusomo guno gwetabiddwako abantu abenjawulo omubadde Kojja wa Kabaka Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko,Baminister ba Buganda ,Basenkulu b’ebitongole,Bannaddiini ,abaami bamasaza ne Gombolola abazukulu nabalala

 

Bisakiddwa: Kato Denis