Ttiimu y'eggwanga ey'omupiira ogw'okubaka eya She Cranes esitukidde mu mpaka za Africa ez'okubaka eza Africa Netball Championships ez'omwaka guno 2026 oluvanyuma lw'okumegga South Africa. 

Empaka zino zibadde ziyindira mu kibuga Nairobi ekya Kenya, era Uganda She Cranes okuwangula ekikopo ekubye South Africa obugoba 56 ku 53.

Shadia Nassanga owa She Cranes alondeddwa nga omuzannyi asiinze banne mu mpaka zino, nga yasiinze n'okuteeba goolo enyiingi, ate Margaret Bagaala ye muwuwutanyi asiinze banne. 

She Cranes bwetyo eyiseewo okukiika mu mpaka z'ensi yonna eza Netball World Cup ezinabeera mu Sydney Australia omwaka ogujja 2027.

She Cranes era  ewangudde ekikopo kino omulundi gwayo ogw'okuna, nga ebadde yasooka kukiwangula mu 2014, 2017 ne 2018.

 Uganda, South Africa, Malawi ne Namibia be bagenda okukiikirira ssemazinga Africa mu Netball World Cup e Sydney Australia omwaka ogujja 2027.#

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe