President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhuburwa alagidde Ministrty y'ensonga za Techonologiya ng'ekolera wamu n'ekitongole ekirungamya ebyempuliriziganya ki UCC okuzimbira eyali akulira Afrigo Band omugenzi Moses Matovu ennyumba okumusiima.
Abakungu ba government nga bakulembeddwamu Minister omubeezi owa ICT Owek Joyce Juliet Nabboza Ssebugwawo abakulembeze mu UCC saako abadukanya Band yaAfrigo baasisinkanye ku kitebe kya Afrigo e Kibuli mu Kampala, nebakaanya ku birina okugobererwa ku kirabo kino government kyeyawadde Moses Matovu Papa Moi.
Minister Nabbosa Ssebugwawo bwabadde ayanjulira abakulira Band eno obubaka okuva eri President okubadde n'obukadde bwa shs 10m okuyambako aboluganda lw'omugenzi, ategezezza nti government yakukola ekisoboka okuwagira emirimu gya Band eno, saako okuweerera omu ku baana b’omugenzi Maria Namuyomba okumalako emisomo gy’obusawo.
Ssenkulu w'ekitongole ekirungamya emikutu gyempuliziganya ekya UCC, George William Nyombi Tembo agambye nti bagenda kukola ekisoboka okulaba nga Afrigo Banda eyongera amaanyi mu byekola okusomesa abantu nga bayita mu nnyimba.
James Wasula omu ku baddukanya Afrigo Band ayongedde okugumya bannauganda nti wadde baafuna okusoomozebwa kw'okuviibwako munnabwe Moses Matovu, nti naye sibakuva ku mulamwa ogwokuwereza abawagizi babwe, era Matovu kyabadde asiinga okwagala okuva mu 1974 band eno lwebaagitandika.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment