Ssaabasajja Kabaka yasiima okutumbula obuwangwa nénnono ya Buganda ng'ayita mu program entanda ya Buganda eyindira ku mukutu gwa CBS ogwa 88.8.


Cbs fm ng'eri wamu ne banna mukago aba MTN ne MTN MoMo baatadde ebirungo nkumu mu ntada yómwaka guno nékigendererwa ekyokusanyusa n’okukulaakulanya abantu ba Kabaka.

Entanda egenda okuyindira mu studio za 88.8 yaakutandika nga 9 Novemver okutuuka nga 19 December 2026, yakwetabwamu abamegganyi 60.

Nga 25 November, CBS wamu ne bannamukago aba MTN ne MTN MoMo baakusoya ebibuuzo abakozi okuva mu bitongole ebyenjawulo mu ntanda etuumiddwa Entanda Corporate era nga ebitongole ebinaasinga byakuweebwa ebirabo.

Entanda ya Buganda emanyiddwa nga Entanda dispora yaggwa dda era nómuwanguzi naafunibwa. Eno yetabwamu  abantu ba Kabaka ababeera ebweru wéggwanga mwebayita okuddamu ebibuuzo ebikwata ku buwangwa nénnono ya Buganda,

Cbs ne MTN wamu ne MTN MoMo,  nga 28 November, era bategese entanda diaspora abantu ba Kabaka abalala ababeera emitala wa Mayanja mwebagenda okuvuganyiza era abawanguzi abalala nabo baweebwe ebirabo.

Okumanya entanda yaaluno eyongeddwamu ekinogezi,  nga 01 December, 2026 okutuuka nga 30  December, CBS ne bannamukago baayo aba MTN ne MTN MoMo era  bategese Entanda Street, mwebagenda okusoyeza abantu bÓmutanda ku nguudo ezenjawulo ebibuuzo era abanaddamu ebibuuzo mu butuufu baweebwe ebirabo nénsimbi enkalu.

Etanda era yaakutwalibwa mu Masaza agenjawulo, era nga 19  December,2026 yakubeera Budd.

Kyaggwe yaakubeerayo nga 17 December.

 Ssingo yakubeerayo nga 30 December, era abantu ba Kabaka mu masaza  abanaddamu ebibuuzo mu butuufu baakuweebwa ebirabo.

Program entanda ya Buganda yaakufundikirirwa mu Lubiri e Mengo, nga 31 December,2026 mu Nkuuka, egenda okubeera enyuvu ebitagambika nga eyaluno etuumiddwa Enkuuka MTN Jaguza - Tukula ffena.


Bisakiddwa: Ssekajjiijja Augustus