Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kubunyisa amasanyalaze mu ggwanga ki Uganda Electricity Distribution Company Ltd UEDCL kikakasizza bannauganda nti kikola butaweera ekwanganga ekizobu ky'ebbula ly'amasannyalaze mu bitundu ebyenjawulo.

 

Babadde mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde ku kitebe kya UEDCL mu Kampala.


Akolanga Ssenkulu wa kitongole kino Rwaboogo Joselyn ategezezza eggwanga nti basanze okusoomozebwa okwenjawulo okuli Transformer ezitamala ,ababba Waya z'amasanyalaze,ebyuma ebikaddiye ebyetaaga okukyusa,sente ezibaweebwa okukola emirimu ezikyali entono n'e birala.

 

Agamba nti betaaga Transformer 1500 mu bbanga lya myezi 3, kyokka okusoomozebwa kwebakasanga kampuni zawano munda mu ggwanga tezirina busobozi bumala ku bawa Transformer ezo ,nga basobola kubawaako 300 byokka.


Agamba nti kati bagala kugenda mu mawanga agenjawulo okugulayo Transformer kubanga bazetaga mu bwangu.

 

Joselyn Rwaboogo anyonyodde nti omuwendo gw'abantu abakozesa amasanyalaze gweyongedde okuva ku 1,600,000 okutuuka ku bantu obukadde 2,800,000. 


Rwaboogo agambye nti balina ebitundu byebataandise okuddaabiriza ng'amasanyaleza tegakyavaako era nga n'ebirala binji bigenda kukolebwako.

 

 

Isaac Teewanga akulira enzirukanya y'emirimu mu  UEDCL agamba nti bagala ssente okwongera okulongoosa omulimu gwabwe wamu n'okuzimba Line z'amasanyalaze n'amasundiro g'amasannyalaze amalala.  


Bisakiddwa: Nakato Jeniffer Lwantale