Omusirikale wa police PPC Ayijuka Saul asindiridde abantu babiri abasasi nebalumizibwa, ate oluvanyuma naye neyekuba essasi naafirawo ku Freedom City mu Kampala.
Kigambibwa nti owa police avudde mu mbeera olw'obutakkaanya munkolagana yaabwe, wakati we n'omuwala Florence Akankunda ow'emyaka 23, naamukuba amasasi erimu nerimukwasa mu kisambi.
Okusinzira ku police mu bakubiddwa amasasi mu baddemu n'omukumi wa kampuni y'obwananyini addusiddwa mu ddwaliro e Mulago ne Akankunda.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n'emirirano Luke Owesigire agamba nti mu kifo awabadde ekikangabwa kino bafunyeewo ebisosonkole bya masasi, emuddu ekika kya AK-47 egambibwa okukozesebwa era bitwaliddwa ng'obujjulizi, nga bseboongera okunoonyereza..#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment