Amawulire
Omuliro gusaanyizaawo emmaali y’abantu mu Kakajjo Bweyogerere
Namubiru Juliet
November 3, 2024
5:40 PM
Nabbambula w’omuliro asaanyizaawo emmaali y’abantu mu kitundu kya Kasubi Kakajjo e Bweyogerere mu Kira municipality wabula ekivuddeko omuliro tekinnamanyika. Abantu abamu bagamba nti gwandiba nga guvudde ku masannyalaze, ate abalala bagamba nti gutaandikidde mu kafo akamu akafumba emmere akaliraanye police post ye Kakajjo. Abatuuze abaliranyeewo balwana butaweera okuzikiza omuliro guleme kusaasaanira mayumba. Tewanabaawo muntu agambibwa […]
Nabbambula w’omuliro asaanyizaawo emmaali y’abantu mu kitundu kya Kasubi Kakajjo e Bweyogerere mu Kira municipality wabula ekivuddeko omuliro tekinnamanyika.
Abantu abamu bagamba nti gwandiba nga guvudde ku masannyalaze, ate abalala bagamba nti gutaandikidde mu kafo akamu akafumba emmere akaliraanye police post ye Kakajjo.
Abatuuze abaliranyeewo balwana butaweera okuzikiza omuliro guleme kusaasaanira mayumba.
Tewanabaawo muntu agambibwa okuba ng’alumiziddwa mu muliro guno.#
Bisakiddwa: Samson Kisekka
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment