Olukungaana lwa Buganda Bumu Europe Convention olubumbujjira mu Bungereza mu Kibuga London lugguddwawo, n’okusaba okwenjawulo eri abantu ba Kabaka mu Bulaaya okwettanira okusiga ensimbi mu bintu ebyenjawulo.

Bwabadde aggulawo olukungaana luno ku Green Towers Community center mu kibuga London, Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti ng’ogyeko abantu ba Kabaka okukuuma ennono, Olulimi n’Obuwangwa, basaanye okulwaanyisa Obwavu nga batandikawo emirimu omuva ensimbi.

Katikkiro acoomedde Abaganda mu Bungereza abasukkiridde okwesosola nga bekwaasa Obutayagalwa , naabasaba omukwano bagutandikire mu mikwano gyabwe, Amaka gabwe n’ensi yabwe Buganda.
Minister wa government ez’ebitundu era nga yavunaanyizibwa ku bantu ba Kabaka abali ebweru wa Buganda Owek Joseph Kawuki, asabye abantu ba Beene e Bulaaya obutakkiriza muntu yenna kufeebya kitiibwa kya Buganda ne Nnamulondo.

Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Bulaaya Ssalongo Geoffrey Kibuuka yebazizza Beene olw’Okusiima n’amulonda akiikirire Abantube, nategeeza nti wakufaayo okutumbula Obumu.

Olukungaana luno lwetabiddwaamu omumyuuka owooubiri owa Katikkiro Owek Robert Waggwa Nsibirwa, Owek Haji Hamis Kakomo, Owek Isreal Kazibwe Kitooke, Owek Dr. Anthony Wamala, Owek Hajji Mutaasa Kafeero , Owek Rashid Lukwago Omubaka wa Ssaabasajja e Sweden Nelson Mugenyi, Omuk John Fred Kiyimba Freeman, Ssenkulu wa BLB Omuk Simon Kaboggoza n’Abalala bangi.

Bikungaanyiziddwa: Kato Denis