Ssaabasajja Kabaka  Ronald Muwenda Mutebi II asaasidde abantu b'Obukama bwa Tooro olw'okuviibwako Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV, abadde Emunyeenye mu Bukama bwe n'eri Banna Uganda bonna.

Obubaka bw'Omuteregga busomeddwa Omulangira David Kintu Wassajja,  ku Lutikko ya St. Johns Cathedral Kabalole mu Kibuga Fortportal, ewabadde okusaba okwenjawulo, ng'Omukama Oyo Rukidi IV tanaziikibwa.

Ssaabasajja Kabaka era nga y'omu ku  bakuza b'Omukama Oyo, agambye nti Omukama abadde ayagala nnyo Obuwangwa n'Ennono, wamu n'Abantu be.





Beene asaasidde nnyo Maama w'Omukama Best Kemigisa ,Ababiito n'Ababiitokati, era abalagidde bakozese akaseera kano okukuuma obumu ,ku lw'Obulungi bwa Tooro.



Omukulembeze w'Eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni nga akiikiriddwa omumyuka wa sipiika wa Parliament Thomas Tayebwa, yebazizza Omukama olwokufaayo ennyo eri Abantu be, ate natabeera muziziko eri government.


President Museveni asabye Banna Uganda okuggula olutalo ku kirwadde kya Kkookolo nga beewala byonna ebibuleeta, era asabye abasawo okuyambako bannansi okubabuulira byonna ebivaako kookolo.

Omuguta gw'Omukama Oyo Rukidi IV olugyiddwa mu Karuzika gutwaliddwa butereevu mu kanisa ya St.Johns Cathedral Kabalole mu kibuga Fortportal, neguyingizibwa munda okumala eddakiika 20, era Ssaabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda  Dr. Samuel Steven Kazimba Mugaru nakulemberamu essaala eyenkawulo, wakati mu bantu abatono abakkiriziddwayo.


Oluvannyuma Omuguta gufulumiziddwa ebweru mu luggya lwa Lutikko ewategekeddwa okusaba kwa bonna.

Ssaabalabirizi nga yakulembeddemu okusabira Omukama ku Lutikko ya St Johns cathedral Kabalole ku Kibuga Fort Portal, asinzidde mu kubuulira naasaba Abantu ba Tooro bateeke ku bbali ebibaawula byonna, bakulembeze Obumu n'Omukwano.



Musuuga Charles Kaamurasi yeebazizza abantu ba Tooro olw'okwagala ennyo Obukama bwabwe, kyokka naabasaba okusigala nga bali bumu.

Musuuga mu ngeri eyenjawulo yebazizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, olw'obukuza bw'Omukama obutaliiko muwendo , kyokka naalabula bonna abeerijjira ku Bukama nti basaaga,era asinzidde ku Lutikko nalangirira Omukama Omuggya Edward Kijjanangoma Nyabongo.



Musuuga ayozezza ne ku mmunye bwabadde ayogera ku buyinza obwamuweebwa ,era asabye Omukama Katonda akuume Tooro nga nyweevu nga'Olwazi.



Maama w'Omukama Oyo,  Best Kemigisa yebazizza abantu be Tooro n'Abantu bonna ababakwatiddeko mu kaseera akazibu, kyokka mu ngeri eyenjawulo neyeebaza Musuuga Charles Kaamurasi olw'Obuweereza obwenjawulo eri Obukama.



Omumbejja Komuntale Batebe asabye abantu b'Omukama okukitegeera nti embeera y'Obulwadde bw'Omukama, Omuhiikirwa Rwomiire Calvin Armstrong yali tagimanyiiko, kuba Omukama yali tayagala emanyibwe ,abantu be babeere ku bunkenke.



Omukolo gw'Okusabira Omukama gwetabiddwako Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule n'Omumyuukawe Owek Ahmed Lwaasa, Nnaabagereka Sylvia Najjinda ,Ba Naalinnya,Abalangira n'Abambejja, ba minister mu Bwakabaka bwa Buganda nabalala.


Okusaba kuno kwetabiddwaako abakulembeze abennono wano mu Uganda n'ebweru waayo, ba minister omubadde minister w'ensonga z'Obwakabaka president Milly Babirye Babalanda,minister w'ensonga z'abakozi ba government Rtd.Gen.Katumba Wamala , minister wa government ez'ebitundu Blam Barugahare n'abalala bangi.

Bisakiddwa: Kato Denis