Parliament ekkiriza government  okwewala ensimbi obuwumbi bwa Uganda 139 okuva mu Bufalansa okuzimba eddwaliro ery'omutindo, eryekebeggya n'okujjanjaba ekirwadde ya kkookolo mu kitundu kye  Mbarara erya Mbarara Regional Oncology Center.


Parliament okuyisa ensimbi zino, esinzidde ku alipoota y'akakiiko kaayo akalondoola ebyenfuna akabadde kekeneenya okusaba kwa government kuno okwewola ensimbi zino, nga alipoota eno eyanjuddwa mu parliament omubaka omukyala owa district ye Pakwach Jane Avu  Pachuto

Eddwaliro lino erya Mbarara Regional  encology center lyakubeera n'ebitanda eby'omulembe 138 saako ambulances ez'omulembe 2, ebyuma eby'omulembe okuli CT Scans, X- Rays, Magnetic Resonance Imaging(MRl),Rl),Mammography and ultrasound machines n'ebirala.


Eddwaliro lino era lyakubeerako ebbanguliro ly'abasawo nekifo ewakolebwa okunoonyereza ku kirwadde kya kkookolo eky'omutindo.

Mu ndagaano y'okwewola ensimbi zino, wakati w'omuwozi w'ensimbi zino ne government ya Uganda, ebintu okuli ebikozesebwa mu kuzimba saako abakozi abagenda okukola omulimu gw'okuzimba abagenda okukkirizibwa okuva wano mu Uganda ne munsi endala byakumalawo ebitundu 30% ku muwendo gw'ensimbi za project yonna 

Ebikozesebwa ebirala okuli ebintu ebizimbisibwa n'abakozi nga byonna bikola ebitundu 70% ebyomuwendo gwensimbi za project yonna byakuva Bufalansa, okusinziira ku ndagaano okugenda okwewolerwa ensimbi zino.

Ebbanja lino lyakusasulwa mu bbanga lya myaka 25.


Ebiwandiiko biraga nti abantu abali eyo mu mitwalo ebiri n'ekitundu (25,000) bebafa olwekirwadde kya kkookolo  mu Uganda buli mwaka, nga bangi kubbo bafa olw'okulwawo okumanya ekirwadde kino, era  bagenda okutuuka mu malwaliro nga kyabasensera dda, songa abalala bakaluubirizibwa okufuna obujanjabi olw'eddwaliro lya koookolo erya Uganda Cancer Institute okuba nti liri mu Kampala mwokka.


Mu mbeera eno, government yalangirira enteekateeka y'okuzimba amalwaliro agajanjaba ekirwadde kino ekya Kkookolo mu mabendobendo g'eggwanga okuli Mbale, Arua ,Mbarara n'amalala 


Eddwaliro erigenda okuzimbibwa e Mbarara erijanjaba kkookolo lyakwegatta ku ddwaliro lye Mbale government lyeyewolera ensimbi  obuwumbi 38 mu mwaka gwa 2025  okuva mu bank ya Austria eya UniCredit Bank, saako obuwumbi 128 okuva mu kitongole ki Islamic Development Bank okuzimba eddwaliro lya kkookolo eddala mu kibuga Arua .