Kooti y’amagye etuula e Makindye esalidde abaali abayeekera
ba Allied Democratic Forces 2 ekibonereso kyakuttibwa, oluvannyuma lw’okusingibwa
omusango gw’okutega bbomu ezaaviirako abakyala 2 okufa mu mwaka 2025.
Abasaliddwa ogw’okuttibwa ye Hamza Byavaala ne Hadil Walusansa
olw’okuluka olukwe olw’okutega bbomu ezaabwatuukira okuliraana eklezia y’abajulizi
e Munyonyo n’endala nebwatuukira okumpi n’akatale ke Kalerwe, nga zaafiiramu
abakazi babiri Sumayiya Byaruhanga ne Sawiya Azatu.
Sumayiya Byaruhanga yafa ku lunaku lw’abajulizi nga 03
June,2025 okumpi ne Munyonyo Martyrs Shrine, bbomu gyeyali yetisse bweyabwatuka
nemubetenta, ate ye Sawiya Azatu yakubwa byasi abasirikale abalwanyisa obutujju
aba Joint Anti-Terrorism Taskforce abaali bamulinnya akagere, nga yali naye
alina bbomu gyeyali agenda okutulisiza ku katale e Kalerwe nga 21 June,2025.
Obujulizi obuli mu kooti bulaze nti baapangiriza abakazi abo
ennyumba mu Kampala, era eyo gyebaasinziira nebabatikka bbomu emu nebwatuukira
e Munyonyo nendala abakugu gyebaalabuukirira nga bukyali, omukazi gwebaali
bajitisse nebamukuba ebyasi nga tenatulika kutta bantu.
Omulamuzi wa kooti y’amagye Brigadier Richard Tukacungura
ababiri abasalidde gwakuttibwa, agambye nti ebikolwa byabwe byaviirako obulamu
bw’abantu okutokomoka, saako okuteeka eggwanga ku bunkenke, nebaleetera
bannansi okutya n’okweraliikirira.
Basabye omulamuzi abawe ekibonerezo ekisaamusaamu, wabula
omulamuzi abigaanye era naabasalira gwakuttibwa, wabula nabawa amagezi nti
basobola okujulira ekibonerezo ekibasaliddwa.
Bisakiddwa: Betty
Zziwa
Comments (6)
Leave a Comment