Kiberu Kizito Kamya ye Muzira mu bazira wa 2023 ow’Entanda ya Buganda 2023.
Munna Kabula Kiberu Kizito Kamya eyeddira Emamba Namakakka anywedde akendo mu bazira banne bwebabadde mu Lwokaano.
Omuzira mu bazira w`Omwaka guno Kiberu Kizito Kamya, awereddwa ekyapa kye ttaka n`obukadde 5.
Nnaalinnya Agnes Nabaliga akiikiridde Ssaabasajja Kabaka akwasizza omuziramubazira ekyapa ky’ettaka n’engule.
Mu bubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obusomeddwa Nnaalinnya Agnes Nabaloga, akubirizza abantu okwekuuma obulungi n`okuba abegendereza mu buli mbeera.

Nnalinnya oluvannyuma agguddewo omwaka omujja 2024 n’okuggalawo omukadde 2023.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, yebazizza bonna abalina kyebakoze mu kukulakulanya Obuganda Omwaka guno.
Ssenkulu wa Cbs Omukungu Micheal Kawooya Mwebe, atenderezza omutindo okwategekeddwa enkuuka n’ENtanda y`Omwaka guno 2023, era neyebaza buli Alina kyakoze mu nteekateeka zino.
Munna Buddu Ssemaganda Gerald eyeddira Engabi Ensamba, akutte kyakubiri era aweereddwa obukadde bwa shs 3 ne piki piki.
Munna Buddu Bogere Richard eyeddira Ennyange akutte eky`okusatu aweereddwa obukadde bwa shs 2 ne piki piki.
Abazira abalala ababadde mu lwokaano abatuuse mu Lubiri e Mengo abavuganyirizza mu Nkuuka Tobongoota, kuliko Munna Mawokota Nassiwa Prossy eyeddira Engo, Munna Buddu Kayemba Ronald Walugembe eyeddira Empologoma, wamu ne Munna Buddu Bukenya Francis eyedidra Engabi.
Lubuulwa Mark eyeddiraa Empologoma okuva mu Canada, Omuzira mu bazira wabakulu mu Ntanda Diaspora, wamu ne Kamya Andrew eyeddira Embogo okuva e Bungereza omuzira mu bazira ow’abato buli omu aweereddwa ekyapa kye ttaka ne piki piki.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment