
Omulangira
Nakibinge nga abadde mukwano gw’omugenzi Matovu, bannabitone abawadde amagezi
nti bayigire ku mugenzi Moses Matovu, olw’empisa ze n’obwetowaze.

Katikkiro
wa Buganda Charles Peter Mayiga, naye asinzidde awo nasaasira
banabitoone bonna mu ggwanga olwokuviibwako omuntu abadde omukugu obwenkanidde
awo.
Agambye nti Matovu abadde awa obudde emirimu gy'akola, ekimusobozesezza okuyiiya n'okuyiimba ennyimba ezigenda okunyumira emirembe egy'enjawulo.
Owomumbuga
era asabye bannabitoone okubeera ebesiimbu bavuuke abetutumu nokwegombesa
abalala, ng’omugenzi Moses Matovu bwabadde.
Omumyuka asooka owa Katiikiiro wa Buganda, Prof.Dr Twaha Kawase Kigongo,
asinzidde Kibuli nasaba abasigaddewo okukoPpa ebirungi Moses Matovu
byabadde nabyo, naddala okuwa abantu ekitiibwa saako okwagala eddiini ye.
Senkulu
w'e Kitongole kyebyepuliziganya, ki Uganda Communications Commission (UCC),
George William Nyombi Tembo, asinzidde wano nategeeza nti Matovu akutte ku
bitone by'abantu bangi, era wakujjukirwa ebbanga lyonna.
Nnyombi Tembo asabye bannabitone abasigaddewo okutwala mu maaso omukululo Moses Matovu gwalese.
Akulira
Ddaawa ku muzikiti ekibuli, Sheik Yasin Kiweewa abantu abajjukizza
okwefumitirizanga ku kufa, bamanye nti balikumpi nakwo era bakole
ebirungi nga tebanagenda.

Bannabitone nga bakulembeddwamu omuyimbi Mesearch Ssemakula, bagambye nti Moses
Matovu, yeeyabaagazisa okuyingira mu kisaawe ky’okuyimba, era abadde
kyakulabirako kinene gyebali, nga bakumusubwa nnyo.
James
Wasula, kulwa Afrigo Band, ategeezezza abakungubazi nti bagenda kutwala mu maaso n'ebiruubirirwa by'omugenzi ne beebaza ne Jjajja Mbuga, abakkirizza okuwerekera
omugenzi ku muzikiti e Kibuli.
Adam
Bukenya kulwa baana bomugenzi, agambye nti bafiiriddwa mukwano gwabwe, era
yeebazizza Omulangira Mbuga, olwokubabeererawo.
Akulira
olujja omuva Moses Matovu, ate era kitaawe ,Kulwa family, Hajji Kaluuma
Kasiimu, agambye nti omugenzi abadde mpagi nnene mu family yaabwe, era
bafiriddwa nnyo.
Ate ye
Ssentebe wa bawagizi ba ttimu yomubira eya Sports Club Villa, Kasule Hassan,
agambye nti omugenzi y'omu kubaatandikawo ttimu ya Villa, era bakumujjukira.
Owekitibwa
Gasita Lule Ntake, abadde munwanyi wa Moses Matovu, agambye nti omugenzi abadde
amwegomba olwengeri gyabadde akola ebintu n'obwesimbu.
Omulambo
gwa Moses Matovu bwegujjiddwa e Kibuli gutwaliddwa ku National Theare,
bannabitone okugukubako eriso evannyuma, ate oluvannyuma omulambo gutwalibwe e Kyanja gyebakumye Ogwoto, olwo aziikibwe enkya ku Friday nga 25 September,2026 ku saawa kkumi ez’olwegulo.
Moses Matovu yazaalibwa nga 16 June 1949.
Ezimu ku nnyimba Moses Matovu zaayimbye ne Afrigo band;
-Amazzi ge Nnyama
-Sikulimba
-Omutanda Gyali
-Teri mubi Kunsi
-Speed
-Oswadde Nnyo
-Guttuke kebaayimba ne Juliana Kanyomozi
-Twazze kukyala
-Jiimu olwa Joanita Kawalya
-Obbangayina olwa Reacheal Magoola
nendala nnyingi.
Comments (1)
Leave a Comment