Minister w'ensonga zomunda mu ggwanga Juma Witonze etegezezza nti ensonga ezigenda mu maaso mu Bukama bwa Tooro omuli okusika omugwa ku mukama omutuufu Alina okudda mu bigere bya Omukama Oyo Nyimba zijjulidde mukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okusalawo, era ng'abadde omu ku bakuza abakulu ab'Omukama Oyo Rukidi IV.
Okusika omugwa kweyongedde nga wasigaddeyo ennaku 2 Omukqma Oyo atabaazibwe, nga 12 September,2026.
Ababiito mu Bukama bwa Tooro, ng'abamu balugandq lw'omugenzi Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV balumiriza bakitaabwe okuli Omujweera Musuuga Charles Kayondo Kamurasi n'akakiiko ke ak'abantu 21 akaalonze era nekalangirira Omukama omuggya Edward Rukidi Kijanangoma,okuba kyekubiira, nti nebalema okussa mu nkola eddaame ly'omugenzi Oyo eriragira okumusikiza mubatani we gweyalese nga omuto.
Omubiitokati Ruth Komuntale mwanyina w'omugenzi Omukama Oyo,saako abamu kuba sengabwe bebasoose okuwakanya okulondebwa kwa Omukama omuggya Edward Rukidi Kijjanangoma, nga bagamba nti eddaame lya Oyo lyalekeddwa ebbali.
Mu ngeri yeemu abamu kubaana b'omusuuga Charles Kamurasi eyakulembeddemu enteekateka ey'okulonda Omukama omuggya, kubadeko omubiito Patrick Mpuuga , ne Nyika Solomon bawakanyizza ebyasaliddwawo kitaabwe nakakiiko ke, bagamba nti wandiba nga waliwo abamukozesa ebikyamu natuuka k'okuleka eddaame lya munnabwe (Omukama Oyo) erirambika obusika.
Bategeezezza nti kitaabwe emirimu gye nga Omusuuga gyakoma ku mpaago ya Oyo eya 30, ey'omwaka gwa 2025, era nga omu kubano yabadde Alina okubeera Omusuuga kyokka omugenzi agenze okuserera nga tekinakolebwa.
Wabula Minister omubeezi ow'ensonga z'omunda mu gwanga Juma Witonze, ategezezza nti ensonga zino zirinnye enkandaggo, era kati balinze omukulembeze w'eggwanga okubalungamya.
Bisakiddwa: Ssebuliba William
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment