Obukulembeze bwa parliament busazeewo okuggya ennamba z'essimu z'ababaka ba parliament bonna ku mitimbagano, n'ekigendererwa eky'okunyweza ebyokwerinda byabwe n'okubataasa ku bantu ababalondoola buli wamu.

Emyaka gyonna ennamba z'essimu z'ababaka zibadde ziteekebwa ku mitimbagano gya parliament,  ng'a abazeetaaga kwebabadde baziggya.

Parliament kino ekidibizza nti kyabulabe eri ababaka bano, abantu bangi abakyamu babadde bakozesa omuwaatwa guno nebafuna ennamba zino ,kwebabadde basinziira okutaataaganya ababaka okuyita mu kubakubira essimu, okuzikozesa mu bawozi b'ensimbi n'ebirala.

Amyuuka sipiika wa parliament Thomas Tayebwa agambye nti abafere bangi babadde bakozesa omuwaaatwa guno okufera ababaka, okubataagaanya, nokubagatta ku mukutu gya WhatsApp egitalina makulu gyebali.

Mu mbeera eno, Tayebwa agambye nti ensonga Eno yatunuddwaamu obukulembeze bwa parliament nebusalawo nti ennamba z'essimu z'ababaka zonna ziggyibwe ku mutimbagano , kusigaleko ennamba za parliament zokka.

Kati munnansi abeera yetaaga ennamba y'omubaka wakjkuba ku parliament butereevu asabe ennamba y'omubaka gwaba yetaaga, sso SSI kugifuna ku mitimbagano nga bwekiri mu kiseera kino.#