Abatuuze ku kyalo Kalingoma mu gombolola ye Kyesiiga mu district ye Masaka ,bagudemu entiisa ekirombe ky’omusenyu bwekibuutikide abantu babiri nebafiiramu.

Abafudde babadde balombe abasima omusenyu nga babadde baaleka ekigulumu waggulu, kyekitendewaliddwa  nekibabuutikira.

Abafudde ye Kizza Fred ne Kasozi Charles nga bombi babadde babeera Kalingoma.

Police eyitidwa mu budde okuyiikuula omusenyu okugyayo abantu ,naye bagenze okutuuka ng'ababiri baafudde.

 

Omwogezi wa Police mu bendobendo lya Masaka agambye nti wabaddewo obulagajavu eri abantu ababadde basima omusenyu, olw'okuleka ekigulumu webabadde bakolera.