Ababalirizi be bitabo bya government 3 okuva mu wofiisi ya Ssaababalirizi w'ebitabo bya government bakwasiddwa Police ya Parliament enoonyereza ku buzzi bw'emisango, oluvannyuma lw'okulemererwa okunnyonnyola ensonga eyabalemesa okubalirira kampuni yaba Russia eya Joint Stock Security Company Limited, eyaweebwa omulimu gw'okukola number plates eza digital.
Okuva kampuni eni lweyaweebwa omulimu guno mu mwaka gwa 2021 tebalirirwangako.
Abakwatiddwa kuliko Anthony Kimuli, Martin Bamulumbye ne Echuli Emmanuel nga babadde balabiseeko eri akakiiko ka parliament akavunaanyizibwa ku kulondoola eby'obuzimbi n'entambula, okubaako byebaanukula ku nsimbi ezisolozebwa kampuni eno okuva mu number plates zeekola.
Okusinziira ku bakulu bano, bbo nga wofiisi ya Ssaababalirizi w'e bitabo bya government babadde bakyakunganya ebikwata ku kampuni eno, okuva mu ministry evunanyizibwa ku byentambula wamu ne wofiisi ya president olwo balyoke bagibalirire omwaka ogujja 2027.
Akakiiko kano kazze kakunya abantu n'ebitongole ebyenjawulo ku nsonga ya number plates zino endigito, okutuusa lwekaayise wofiisi ya Ssaababalirizi w'ebitabo bya government okumanya ensimbi ezikolebwa kampuni eno, wabula ababaka kibabuuseeko okulaba nga abakulu bano tebakolanga mulimu gwabwe ekintu ekibatabudde.
Ssentebe wa kakiiko kano Mwine Mpaka awaliriziddwa okubasindika eri police ya parliament bagibweko sitatiment, n'oluvannyuna baggalirwe okutuusa nga Mukama wabwe Ssaababalirizi w'ebitabo bya government Edward Akol alabiseeko eri akakiiko kano, annyonnyole ku nsonga eno avuddeko eggwanga okufiirwa ensimbi empitirivu ko ne bannauganda okunyigirizibwa nga bagula number plates zino ku nsimbi enkumu.
Kampuni eno eya Joint stock Company Global Security, yaweebwa omulimu gw'okukola number plates endigito ezirimu akuuma akalondoola aka Intelligence transport monitoring system (ITMS) mu mwaka gwa 2021, nga ku nsimbi zeetunda number plates, government etwalako ebitundu amakumi 20%, olwo yo neesigaza ebitundu 80% nga yakumala emyaka 10.
Buli number plate endigito empya egula emitwalo 714,300 okuva ku mitwalo 130,000, ezaali zigulwa number plates enkadde, nga neeno yeemu ku nsonga ebobbya banauganda emitwe.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment