Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nsimbi z’ekittavvu ky,abakozi ekya National Social Security Fund, (NSSF), kiwadde nsassale wa myezi 2 gyokka eri kampuni n’ebitongole ebikyalemeddwa okusasulira abakozi babwe ensimbi z’okwetegekera obukadde eza NSSF.
NSSF egamba nti akalembereza kano katandise nga 10 okutuusa nga 11 May,2026 eri kampuni n’ebitongole ebibanjibwa emyezi n’emyaka egiyise nga tebisasula mitemwa gya ssente z’abakozi ezirina okuterekebwa mu NSSF.
Abakulu mu NSSF bagamba nti akaseera kano bakatumye Amnesty, era NSSF esuubira okukuηaanya obuwumbi bwa shs 30 okuva mu bitongole emitwalo 28,000 era abakozi abawera emitwalo 10, bebasuubirwa okuganyulwa mu nteekateeka eno.
Amyuka akulira NSSF, Gerald Kasaato, agambye nti buli kitongole ekibadde kibanjibwa ssente z’abakozi eza NSSF nga kibadde tekiziwereza, kigenda kusonyiyibwa engassi ey’ebitundu 10 ku buli 100 gyebabadde balina okusasula buli mwezi ogubadde gubayiseko nga tebagusasulidde.
Agambye nti mu mwaka guno 2026 basuubira okukuηaanya obuwumbi obusoba mu 100, kulwabakozi naddala abasalibwa ensimbi zaabwe nezitateekebwa mu kittavvu kyensimbi z’abakozi nebafiirizibwa amagoba aga buli mwaka.
Kasaato era agambye nti buli kampuni oba ekitongole ekibangibwa kisobola okukozesa omutimbagano gwa NSSF okutuukiriza obuvunanyizibwa obwo mu bbanga ery’emyezi ebiri, era abataakikole ssinga emyezi egyo jigwaako engassi yakubakwata.
Ekitongole kino kikakasizza nti mu kiseera kino kizitowa Trillion 30 ez’abakozi mu Uganda, nga kirina ba memba obukadde 3,400,000 okuva mu kampuni n’ebitongole 113 okwetoloola eggwanga lyonna.
NSSF egamba nti ensimbi zino zaasigibwa mu bintu ng’okuzimba ebizimbe nga ebitundu 5.8% ku nsimbi zino zeziri mu bizimbe, ebitundu 15% ziri mu kugula migabo gya government, n’endala ebitundu 79% zaasigibwa mu mirimu emirala (Fixed Investments).
Bisakiddwa: Ddungu Davis











