Olukiiko oluddukanya liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, lukakasizza nti season ejja eya 2026/27 club 4 ze zijja okusalibwako okuddayo mu kibinja ekyawansi ekya FUFA Big League. 

Akulira eby'emirimu ku lukiiko lwa Uganda Premier League, Bernard Bainaman, akinoganyiza nti ate club 2 zijja okusumusibwa okuva mu FUFA Big League okuddayo ku muwendo gwa ttiimu 16, nga bwegubadde season ewedde. 

Season eno empya eya Uganda Premier League 2026/27, club 18 zezigenda okuvuganya okuva ku 16, wabula season enaddako eya 2027/28 ttiimu zijja kuddayo ku 16.

Emipiira 306 gye gigenda okuzannyibwa mu season eno eya 2026/27 okuva ku mipiira 240 egya season ewedde, era buli club yakuzannya emipiira 34 okuva ku 30 egya season ewedde. 

Bernard Bainaman Bampaire akakasiza nti emipiira egy'ekiro egy'okulagibwa ku TV gijja kitandikanga ku ssaawa 2, ate egitali gya TV egy'ekiro gitandikenga ku ssaawa 1 eyakawungeezi. 

Bannantameggwa ba season ewedde aba Vipers be bagenda okuggulawo season eno nga battunka ne Entebe UPPC mu kisaawe kya St Mary's Kitende, nga 28 August,2026.