Government ya Uganda okuyita mu ministry y'ebyensimbi n'okuteekerateekera eggwanga ebuulidde parliament nti ensimbi obuwumbi 441 n'obukadde 703 zezokka zeyasasula kampuni ya UMEME oluvanyuma lw'endagaano gyeyalina ne government okugwako mu mwaka 2025.

Mu mwaka March 2025, government yaddukira mu parliament neesaba egikkirize yeewole obuwumbi 712 n'obukadde 588 okuva mu stanbic bank okusasula  Umeme, okusobozesa government okusigaza ebintu kampuni eno byeyali ekozesa okutambuza eby'amasanyalaze.


Parliament yakkiriza government okwewola ensimbi ezo, wabula yasaawo obukwakulizo nti bweeba yeewola okusasula kampuni ya umeme , ensimbi zokka ezabaliriddwa Ssaababalirizi w'ebitabo bya government zeeba yeewola era zeeba esasula Umeme.

Minister w'ebyensimbi Henry Musaasizi alipoota gyayanjudde mu parliament ennyonyola ku nsimbi ezeewolebwa neezo ezaasasulwa, eraze nti wadde government yali ekkiriziddwa okwewola obuwumbi 712 n'obukadde 588, naye yewolako obuwumbi 441 nobukadde 703 era zeyasasula kampuni ya umeme, era Ssaabaabalirizi w'ebitabo bya government zeyalambika.



Kinnajjukirwa nti endagaano ya umeme eyemyaka 20 bweyagwaako ngennaku zomwezi 31 March, 2025, government yeddiza obuvunanyizibwa bw'okuddukanya amasanyalaze era omulimu negukwasa kampuni yaayo eya Uganda electricity Distribution company limited UEDCL.

Wabula oluvannyuma lw'omwaka mulamba n'emyezi egisoba mu 5, bannauganda bakyekokkola amasannyalaze agavaako buli kadde mu bitundu by'eggwanga byonna, wabula nga UEDCL bwebasuubiza nti ebintu byakutereera.#