Obukadde bwa shilling ya Uganda 111 nÓmusobyo kko nénsawo za Cement ezisusse mu 22, bwebusondeddwa bazzukulu ba Namugera Kakeeto abeddira Omutima Omuyanja,mu kaweefube gwebaliko owÓkuzimba ekitebe ky’Ekika e Mutundwe mu Kyadondo.

Ensimbi obukadde 126 zezasondebwa abazzukulu , Abako mu kika ekyo, némikwaano gyÉkika gyebuvuddeko ku mulimu gweegumu, nga zasondebwa ku kyeggulo ekyategekebwa mu Butikkiro.


Ekizimbe kino ekisuubirwa okubeerako wofiisi z'ekika kyakuwemmenta ensimbi ezisoba mu kawumbi akalamba.


Evvuunike ly'okutandika okuzimba litemeddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, era nga ye muwi wÁmagezi mu kika.

Katikkiro agambye nti waliwo
 obwetaavu bwÉbika byonna mu Buganda okuteekawo yefeesi ezÉnkalakkalira ,abazzukulu webayinza okusisinkanira mu budde.


Katikkiro mu mbeera yeemu asambazze ebyogerwa nti ebika birabika byanafuwa , bwategeezezza nti bazzukulu ba Buganda bonna beetegefu okukwasizaako ebika mwebasibuka, nÓkulwanirira ebyobugagga byÉbika bireme kubbibwa basatuusi.

Agambye nti ebika birina okutaambulira ku nkulaakulana ya Tekinologiya aliko, ate nga tebivvodde nnono na buwangwa.


Omukulu wÉkika kyÓmutima Omutaka Namugera Kateeto Nicolus Kasekende, agambye nti mumativu nti ebisomooza ekika mu kadde kano byakuggwawo, naasaba abazzukulu obutakoowa kuwagira mulimu gwa Kizimbe ekitemeddwa evvuunike.


Omuwanika wÉntekateeka yÉkizimbe Hajji Dr Sadala Musoke yeebazizza abavujjirizi ba project eno.


EBisakiddwa:Kato Denis