Ttiimu y'eggwanga ey'omupiira ogw'ebigere eyabazannyi abatasusa myaka 23 eya Uganda Kobs, akalulu kagisudde ku Ethiopia, mu mpaka ez'okusunsula abanaakiika mu z'abali wansi w'emyaka 23, eza U23 Africa Cup of Nations 2027.
Omupiira guno gwa mutendera ogw'okusunsulamu ku round esooka, era omuwanguzi wakati wa Uganda Kobs ne Ethiopia wakuzannya ne Morocco ku mutendera gwa round ey'okubiri ogw'okusunsulamu.
Ethiopia yegenda okusooka okukyaza Uganda Kobs nga 28 September,2026 ate okuddingana kubeewo nga 06 October mu Uganda.
Singa Uganda egenda ku mutendera gwa round ey'okubiri, yakuzannya ne Morocco nga 09 ne nga 17 November,2026.
Uganda Kobs egenda kuba erwana okugenda mu mpaka ezakamalirizo eza U23 Africa Cup of Nations eza 2027 ezinabeera e Misiri, era nga erwana okukiika omulundi gwayo ogunaaba gusokedde ddala.
Empaka zino era zijja kukolanga akasengejja aka Olympic Games eza 2028.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment