• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda : Ekiri ku njovu – Bakiraba egudde.

Eno ye Ntanda : Ekiri ku njovu – Bakiraba egudde.

October 18, 2023
Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

May 21, 2025
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Mityana – emmotoka zitomereganidde e Bujuuko

Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde e Wantoni – abalala 9 bali mu mbeera mbi

May 21, 2025
Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

May 20, 2025
Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

May 20, 2025
Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

May 20, 2025
Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

May 20, 2025
Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

May 20, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Ab’emmundu banyaguludde mobile money e Kasenge

May 20, 2025
Kyabazinga Gabula Nadiope IV atikiddwa masters degree eyokubiri okuva mu Yale University

Kyabazinga Gabula Nadiope IV atikiddwa masters degree eyokubiri okuva mu Yale University

May 20, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Police etaddewo pikipiki ezigenda okuwerekera abalamazi abagenda e Namugongo

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Ab’oludda oluvuganya balambise ensonga zebagenda okugoberera okulemesa okuyisa etteeka ly’amagye

May 19, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Eno ye Ntanda : Ekiri ku njovu – Bakiraba egudde.

by Namubiru Juliet
October 18, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Eno ye Ntanda : Ekiri ku njovu – Bakiraba egudde.
0
SHARES
139
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Mu program Entanda eweerezebwa ku cbs fm 88.8, Abamegganyi,Abameganyi Nakasiwa Gladys owe Kyadondo, Boogere Richard owe Buddu neb Ssenfuka Masasi owe Busujju bebattuunse, mu lumeggana olwanga 17 October,2023.

Boogere Richard eyafunye obugoba 29 ne Nakasiwa Gladys eyafunyi obugoba 17 bayiseewo okugenda mu lumeggana oluddako, ate Ssenfuka Masasi eyafunye obugoba 16 n’awanduka.

Ebibuuzo biibino;
1. Tuweeyo engeri bbiri omuntu zaayinza okukozesa okugoba ensiri mu maka ge –  Asobola okukuma ekyoto nekivaamu omukka neguzigoba n’okugogola ebidiba byonna ebimuliraanye.

2. Tubuulire omwami w’essaza akola Ogwabwawakayembe eri Kabaka –  Katambala.

3. Olugero: Osula wa – Y’akuziga.

4. Tuweeyo ebintu ebikulu bisatu ebitabula ku mukolo ogwokulya olubiika –  Amazzi, Emmwanyi enfumbe n’ekijjulo.

5. Omuti okuva amasanda Omuganda gweyeyambisa okusiba emipiira? – Ppala.

6. Bukulu ki obuli mu kifo Omuganda waayiwa evvu? – Wajja evvu lyayiwa ku bitooke okugoba obuwuka.

7. Enva eziyitibwa Oluwampa kyeki? –  Omusaayi gw’embuzi ogufumbiddwa.

8. Kabaka ki eyalwana ennyo mu ntalo n’alwanyisa n’emmuli?  –  Nnakibinge.

9. Tuwe erinnya Ly’omusiige ayambako Musolooza mu kuseesa mu Kyoto Ggombolola –  Kampujja.

10. Omwana Kayemba amaaso ge gamuli mu ngalo. Kikyamu ki ekiri mu sentensi eyo – Ekisoko ekyo kikozesebwa ku mwana muwala.

11. Omuganda bwagamba nti ennyama eno etiitiiwadde, aba ategeeza ki? – Eba nsava nnyo.

12. Omwana omuwala akyadde e Busoke, tabuuka masanganzira, Tubuulire ensonga ey’ennono eri mu muzizo ogwo? – Kimutangira okusoba.

13. Endagaano nnyingi nnyo ezikoleddwa wano mu Buganda, naye eyakolebwa okuggya Ssekabaka Muteesa mu buwanganguse yakolerwa wa? –  Namirembe.

14. Ekisoko: Okweyokerera omukira okubulwa kyotuuza, kitegeeza ki? –  Kwereetera buzibu.

15. Olugero: Ewafa obuguzi – tewafa mukwano.

16. Ekika ng’omuziro gwakyo n’akabbiro byombi mmere? –  Ekkobe.

17. Ensawo mwebatereka emmwanyi enfumbe , mu Buganda tugiwa linnya ki? –  Endabi

18. Waliwo abantu abamu nga nebwebanywa omwenge ogwenkana ki, ogenda okulaba ng’atamiira. Omuntu oyo kisoko ki ekimugenderako? –  Okuwunya mu ndeku.

19. Olugero: Ekiri ku njovu – Bakiraba egudde.

20. Abalima omuwemba, baggyamu ogumu nebalekamu ogumu, ekikolwa ekyo kiweebwa linnya ki? – Okujjiza.

21. Bwebagamba nti kasooli ayabizza, baba bategeeza ki?  – Aba aleese oluyange.

22. Okumugunya, nakyo kika kyakulya, Mmere ki emugunyizibwa? –  Lumonde.

23. Waliwo ekinyonyi, ekinyonyi ekyo Omuganda akiwanuuzaako nti bwowulira nga kikaabye emirundi egiwera omanya nti enkuba yaakutonnya, Kinyonyi ki ekyo? – Ettutuma.

24. Waliwo munna Uganda Doctor abadde omukugu ennyo mu kujjanjaba emitima, yafiiridde emitala w’amayanja, yaani? –  Dr. Aggrey Kiyingi.

25. Nnamasole ow’omulembe guno Omutebi ava mu kika ki? – Nkima.

26. Tuwe amannya ga Kkangaawo aliko kati –  Owek. Ronald Mulondo.

27. Tubuulire Kabaka wa Buganda eyawangula Butambala – Ssekabaka Kateregga.

28. Waliwo lwetwekoona ekigere nga tubadde tutambula, Omuganda akitaputa atya? – Wayinza okubaawoo omuntu amwogeddeko obubi.

29. Olugero: Katonda gweyaawadde gwaddiza, mu kibanja ky’omugumba temubaamu malaalo.

30. Lwaki akawujjo kebanywesa omubisi ku ssogolero kakolebwa mu byayi? – Guleme kuseerera.

31. Akaana k’enjovu akakazi nga kakyayonka kaweebwa linnya ki? –  Nakate.

32. Tuweeyo amannya abiri agayinza okuweebwa omwana gwebagamba nti yalanga abalongo? –  Kasowole oba Kajjanannenge.

33. Amasiro agali e Masanafu ga Ssekabaka ki? –  Ssekabaka Kiweewa.

34. Omukazi bwaba afumba ayinza okumanya nti anaalya ku nnyama, akimanya atya?  – Bwaba afumba enku zisobola okuvulula.

35. Ekisoko, okukwata mu mannyo g’empisi kitegeeza ki? – Okwereetera ebizibu.

36. Abaganda bawanuuza nti ensolo eno gyebaasookera ddala okufuga, nsolo ki? –  Mbuzi.

37. Tuweeyo amannya abiri agaweebwa omumbejja asika ne Kabaka e Naggalabi? –  Lubuga, oba
Nnaalinnya.

38. Olugero: Tuwakanire ebaagwa –  nti erina eggwako?!

39. Omubala gw’abentalaganya, mulimu ekisoko ekijjukiza abantu nti buli muntu ajja kufa. Kisoko ki? –  Ssekiriba kyattaka, mpaawo atalikyambala.

40. Ani yawandiika ekitabo, “Obunyuvu bw’Olulimi Oluganda”? –  Yoweeri Lukongwa.
41. Mu Buganda okuvuma sikyampisa, ddi lwekikola ng’ekyobuwangwa? –  Nga babuulirira omugole.

42. Olugero: Obuteeraba – bukuvumya akusinga.

43. Okuvugula munno kikolwa kya bujoozi nnyo, Okuvugula kye ki? – Omusajja okusigula muka munne.

44. Amakulu g’ekisoko, okukomba mu kibatu –  Okukuba enduulu.

45. Engabana y’ennyama enjigge mu Buganda eraga etya omwoyo gw’obwasseruganda? – Ssinga wabaawo omuyizzi afunye ennyama entono, bamuwaako.

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda
  • Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde e Wantoni – abalala 9 bali mu mbeera mbi
  • Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo
  • Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima
  • Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -