Ttabamiruka w'abavubuka abawala mu Buganda owa 2026, atambulidde ku mulamwa ogugamba  nti" Omuwala ateekeddwateekeddwa obulungi ly'essuubi lya Buganda"


Mu nteekateeka eno, buli muwala alina okutendekebwa mu bintu ebyenjawulo, nabaako kyasobola okukola.



Bwabadde aggulawo ttabamiruka wÁbavubuka Abawala mu Bwakabaka mu Bulange e Mengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza nti awatali kutekateeka bawala ekimala, tewali ssuubi lya Buganda eyesiimisa, kweekusaba abazadde bakulemberemu omulimu guno.


Ttabamiruka ono asookedde ddala ayindidde mu bimuli bya Bulange e Mengo.



Katikkiro alabudde abavubuka abawala ku kwemanya nti Balungi nnyo nebalowooza nti Obulungi bwebugenda okubayamba okufuna buli kyebaagala, naabawa gaabuwa bakole bagaggawale ate nga basomye.


Katikkiro alabudde Abavubuka ba Buganda abawala ku kwegomba okusukkiridde , kwagambye nti ssinga tebakukomya bandigwa mu buzibu mwebataliva.


Mu ngeri yeemu asabye abawala abavubuka mu Bwakabaka okwettanira ebibiina byÓbweegassi, batereke ensimbi , bazeewole ate bazisige nga bettanira ekittavvu kya SsuubiryoZambogo SACCO.

C

Nnaabagereka Sylvia Nnajjinda bwabadde aggalawo ttabamiruka ono wamu nÓkuggalawo omusomo ogutuumiddwa Healing Minds 2026 school Tour, asabye Abazadde, Abasomesa nÁbantu abakwatibwaako okulondoola Abaana yonna gyebasomera.


Agambye nti kibayamba, okulaba nga tebatataaganyizibwa bintu ng'ebbula ly'ebisale by'amasomero, kuba biyinza okubaviirako okweetaba mu bikolwa ebikyamu.


Minister wÁbavubuka Ebyemizannyo nÉbitone Owek Robert Sserwanga Ssalongo, asinzidde mu Bulange e Mengo nayanjula emiramwa egiwerako mwebagenda okuyita okusitula eddoboozi lyÓmuwala.


Nnajjulu Victoria akulembera Abawala mu Buganda, ategeezezza nti ttabamiruka wÓmulundi guno agguddewo essuula empya eri Omwaana Omuwala mu Bwakabaka , nÓkumuwa amaanyi okukola buli kyaaba ayagala ssinga kiba tekimenya mateeka.


Abawala abavubuka abeetabye mu ttabamiruka nga bavudde mu bitundu bya Buganda ebyenjawulo,   batenderezza ababanguzi ababakutteko, era nebeeyama okudda omwaka ogujja.


Bisakiddwa: Kato Denis