Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ii asiimye Abataka abakulu bÓbusolya olwÓkufaayo okulambika abazzukulu Olulimi nÉmpisa, ebyokulwanyisa ebisinga amaanyi mu kutaasa Obuwangwa nÉnnono ku bantu ababityoboola.
Mu bukaba Ssaabasajja bwatisse omulangira Dr Kasim Nakibinge Kakungulu mu kuggalawo omusomo gwÁbataka abakulu bÓbusolya 2026 mu Lubiri e Mengo, Ssemunywa alagidde abavubuka obutakwatibwa nsonyi okweyogerako nti baddugavu, nÓbutatya kwogera ku bikwata ku mawanga gabwe.
Beene atenderezza Abataka olwÓkusomesa Abavubuka ebikwata ku nnono zaabwe nga bayita mu Nyimbe, era alabudde Abaganda ku nabbakigwaanyizi abalowooza nti omuntu okwogera nti ye muganda olwo abeera Musosoze.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Kabaka obutaggwaamu maanyi olwÓkunyigirizibwa okugenda mu maaso ku Lulimi Oluganda, naabasaba bongeremu bwongezi maanyi.
Ssaabalabirizi w’Ekkanisa y’Abadventi mu Uganda Pastor Dr. Samuel Kajoba y’agguddewo Omusomo ku buwangwa n’ennono ogutekeddwa Abataka b’obusolya.
Pastor Kajoba mu bubaka bwatisse omuwandiisi omukulu ow’Obusaabalabirizi Kalumba Johnson Ssaalongo asabye abavubuka okukomya okwesamba obuvunaanyizibwa nga batya okuzaala.
Olukiiko lwÁbataka abakulu bÓbusolya lusiimye Dr Adam Kimala, nebamukwada Éjjinja eryomuwendo, olwokulafuubanira Obuwangwa nÉnnono, era alondeddwa nga Omuzzukulu asukkulumye ku banne.
Bisakiddwa: Kato Denis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment