Ssaabalabirizi w'ekanisa ya Uganda, The Most Rev Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu, awabudde abasajja abanyigirizibwa mu maka obutasirikabusirisi wabula baveeyo baatule basobole okuyambibwa.
Ssaabalabirizi abadde ku lutikko e Namirembe, ng'atongoza ennaku 16, ez'okwefumintiriza ku ddembe ly'obuntu n'okulwanyisa obutabanguko mu maka, ezitaandise nga 25 November, zakukomekerezebwa nga 10 December 2026.
Zitambulira ku mulamwa ogugamba nti "Tufeeyo okufunira abakoseddwa obwenkanya, Tubakuume, ate Tukomye ebikolwa ebibakosa".
Ssaabalabirizi agambye nti wadde ennaku z'okulwanirira eddembe ly’abantu zitera kusiinga kutunuula bakyala, nti naye abaami bangi basaana okufiibwako n'okubawa obuvumu okwatula ebibasoomoza.
Omukwanaganya w'ekitongole kya ACT Alliance Uganda Forum, Anena Irene, agambye nti baakizudde ng’abasajja obutavaayo kwatula kibaviiriddeko bangi okulwala endwadde ezitasiigibwa, olw'okwennyika n'okweraliikirira ekisusse, olw'okutulugunyizibwa.
Minister omubeezi avunanyizibwa ku by'emizannyo, Peter Ogwang, mu bubaka bwatisse, Dr. Duncans Mugumya, kaminsona avunaanyizibwa ku byokukola dduyiro mu ministry y'ebyenjigiriza n'emizanyo, agambye nti bakwongera okukwasizaako abaami n'abaana b'eggwanga okubatangira okubonaabona munsi.
Mu ngeri yeemu Ssaabalabirizi aweerezza emmere abantu be Kalamoja abatawanyiizibwa enjala, ng'emmere eno esuubirwa okugabwa mu maka 2400.
Bisakiddwa: Ddungu Davis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment