Obwakabaka bwa Buganda butandise okutema empenda z’Okubangawo enkolagana ne kampuni y’Amafuta Stabex, mu kutumbula enteekateeka zaabwo ezenkulaakulana.
Ebimu ku bisuubirwa okukubwamu Tooki mu nkolagana erindiriddwa mulimu stabex okuwagira Obutondebwensi ng'eyita mu kutumbula kaweefube w’Okufumbisa Gaasi, okutumbula ebyobulamu, okusitula ebyobulimi n’enteekateeka endala nyingi.
Bwabadde asisinkanye abaddukanya Stabex mu Uganda, ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti enkolagana eyogerwako esuubirwamu ebirungi nkumu nga Stabex n’Obwakabaka bonna baakuganyulwa.
Akulembeddemu abaweereza mu Stabex Bonifas Kipchilchil Bonifas Kipchirchir agambye nti beetegefu ekimala okukwasizaako Obwakabaka mu buli kinaaba kiggidde mu Ndagaano.
Mu kusooka Katikkiro era asisinkanye abakulira ettendekero ly’Ebyemikono erya Namasuba college of commerce naabeebaza olw’Ettoffaali eddene lyebatadde ku kulwanyisa ebbula ly’Emirimu , nga bawa abaana b’Eggwanga obukugu obusaanidde ku katale k’ebyemirimu.
Katikkiro asabye abazadde okuyambako abaana okukyusa endowooza enkyaamu gyebalina, nga balowooza nti emirimu gy'okusiba amataayi gyokka gyegivaamu ensimbi.
Hajji Jamil Ssebalu nga ye mutandisi w’Ettendekero lya Namasula college of commerce yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw'okufuba okukubiriza abantu okukola, nebegya mu bwavu.
Hajji Ssebalu ategeezezza nti okusomesa ebyemikono mu Uganda kukyaalina okusomoozebwa Kunene, olw’Abantu okulowooleza mu yafeesi zonna nebataagala kweddugaza.
Bisakiddwa: Kato Denis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment