Minister wa Buganda owa gavumenti ez'ebitubdu owekitiibwa Joseph Kawuki yebazizza CBS olwokutwala Entanda ya Buganda mu masomero, nagamba nti kigenda kuyamba okwongera okulungamya abavubuka Kabaka beyakwasa omulembe gwe, ku ngeri entuufu Omuganda gyeyeyisaamu.

Owek.Kawuki abyogeredde ku Ssomero lya Mityana Modern Secondary School mu Ssingo, Bwabadde atongoza Entanda ya masomero mu Ssingo, etandise mu kiro kya nga 24 Museenene,2026.

Entanda eweerezebwa butereevu ku mpewo za CBS 88.8 ne ku mikutu gya CBS egyokumutimbagano, okuva essaawa ssatu n'ekitundu ez'ekiro, okuva ku Bbalaza okutuuka ku lwokutaano.

Owek. Kawuki era asabye abavubuka okubeera abavumu mu buli kyebakola, kibasobozese okutuuka ku buwanguzi

Abategesi b'entanda aba CBS fm, MTN Uganda ne MTN MoMo studio z'entanda bazitutte ku Ssomero lya Mityana Secondary school mu Ssaza Ssingo, amasomero agenjawulo mwegattunkira mu kuddamu ebibuuzo ebikwata ku nnono n'obuwangwa bw'Abaganda.


Ku lunaku olusoose mu Ssingo, Walusimbi Daniel Owa Mumusa High School Mityana awangudde banne n'obugoba 19, addiriddwa Kafeero Mathias owa Township Secondary school mityana Kabule n'obugoba 14.

Muyunga Shakib owa Mityana Modern Secondary School akutte kyakusatu n'obugoba 11 ate ye Bbaale Leticia owa  owa Muusa High school Mityana naakwata kyakuna n'obugoba 10.

Entanda ya Buganda ewagiddwa Movit ne St. Peters SS Bbombo Kalule.

Entanda y'amasomero yatandikira mu ssaza Kyaggwe ku ssomero lya Mt.St.Henry's High School Mukono.

Bisakiddwa: Ssekajjijja Augustus