Ttiimu y'eggwanga eya Senegal ey'omupiira ogw'ebigere eya The Teranga Lions, ekakasidwa ku bwannantameggwa obw'empaka za Africa Cup of Nations ez'omwaka  2025 ezaali e Morocco. 

Olukiiko olutawulula enkaayana mu byemizannyo munsi yonna olwa Court of Arbitration for Sports, lwe lukakasizza Senegal ku bwannantameggwa buno, oluvanyuma lwa Senegal okwekubira enduulu ng'ewakanya ekya CAF okubaggyako ekikopo kino kye baali bawangudde, oluvanyuma lw'okumegga abategesi aba Morocco goolo 1-0. 

Mu mupiira ogwakamalirizo wakati wa Morocco ne Senegal mwalimu okusika omugwa, okusingira ddala eri Senegal abaali bawakanya ekya ddifiri okuwa Morocco peneti, so nga ate nga yali asoose kutta goolo ya Senegal bbo gye baali bagamba nti yali ntuufu.

Mu kusika omugwa okwo, abamu ku bazannyi ba ttiimu ya Senegal bekandaga nebafuluma ekisaawe, wabula oluvannyuma lw'ekiseera baakomawo nebasamba era nebateeba goolo,  n'omupiira era negumalirizibwa.

CAF yesigama ku kikolwa eky'abazannyi okuva mu kisaawe, nesalawo n'okubaggyako ekikopo kyebaali bawangudde.

Wabula  abakulu mu Court of Arbitration for Sports bakinogaanyizza nti Senegal ye yawangula ekikopo kino naddala nga besigama ku alipoota ya ddifiri ekakasa Senegal ku buwanguzi. 

Senegal kati erina ebikopo bya Africa Cup of Nations Nations 2 nga yasooka kukiwangula mu 2021 e Cameroon. 

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe