Club ya Express FC mukwano gwabangi egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, efuumudde abadde omutendesi waayo Morley Byekwaso olw'omutindo ogw'ekiboggwe club eno gweriko ensangi zino.
Amawulire g'okugobwa kwa Morley Byekwaso abakulu bagayisizza ku mikutu gya Express emigatta bantu, wabula tebalaze amudidde mu bigere.
Omutendesi Morley Byekwaso abadde ku bunkenke, okuva Kigezi Homeboys lweyakuba Express mukwano gwabangi goolo 2-1 mu Uganda Premier Leugue 2026/2027, ate nga n'omupiira ogwasembeyo nga ye mutendesi Vipers yalumbye Express omwayo n'egikubirayo goolo 2-0.
Byekwaso alese Express eri mu kifo kya 13 ku ttiimu 18 n'obubonero 11 okuva mu mipiira 12, ng'awangudde emipiira 2 gyokka.
Morley Byekwaso kati afuuse omutendesi ow'okutaano okugobwa mu Uganda Premier League season eno, nga abaasooka okugobwa ye Dennis Lavagne owa Vipers, Jimmy Kintu Mwera owa URA, Joseph Mutyaba owa Kigezi Homeboys ne Francis Mugerwa owa Mbarara City.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment