Akakiiko ak'abant 21 akassibwawo okunoonya Omukama wa Tooro Omuggya kalonze Omubiito Edward Rukidi Kijjanangoma okufuuka Omukama wa Tooro owe 14.
Omubiito Edward Rukidi Kijanangoma adda mu bigere by'Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV eyafa nga 27 August,2026.
Edward Rukidi Kijjanangoma mutabani w'omugenzi Omubiito Christopher Paul Kijjanangoma, muzzukulu wa Sir George David Rukidi Kamurasi III.
Ekiwandiiiko ky'akakiiko kano akakuliddwa Omusuuga Charles Kamurasi, ekyanjula Omukama Omuggya kisomeddwa Munnaddiini Musonyooli Isaiah Mayombo, nga kiteereddwako emikono gy'abantu 19.
Kabadde kayissanyo mu Kikaali ky’e Karuziika, era Abatooro n’Abatoorokati, Ababiito n’Ababiitokati babugaanye essanyu, ng’olukiiko lw’Ababiito lulangirira Omukama.
Okulangira Omulangira Kijjanangoma ku Bukama bwa Tooro kugguddewo essuula empya mu nnonda y’omukulembeze w’ennono Ow’Abatooro, era wabaddewo okusunsula n'okwekenneenya ababiito abenjawulo abaabadde balina okulondebwamu Omukama.
Olukiiko lw’ababiito lutegeezezza nti mu kutuuza Omukama omuggya, bajja kugoberera obuwangwa bwonna n’ennono nga kw’otadde n’obulombolombo bwonna.
Omubiito Edward Rukidi Kijanangoma aweza egy'obukulu 36, munnamawulire omutendeke, abadde aweereza ku TV y’eggwanga eya UBC, ng’asoma amawulire n’okugasunsula.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment