President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa yelayiridde okwambalagaan  n’abantu abagala okutabangula emirembe mu Uganda   nga basekeeterera  n’okwogerera  government gy’akulembera amafukuule.

President asoose kulambula nnyiriri z’abaserikale okuli ab’amagye,police n’abekitongole ky’amakomera.


Emikolo gibadde mu kisaawe kya St John SS Wakitaka mu kibuga Jinja.

Museveni agambye nti government ya NRM erafuubana okuleetawo enkulaakulana mu Uganda omuli okugoba obwavu , okukola enguudo , okunyweeza ebyokwerinda n’okukuuma emirembe wabula nti bino byonna waliwo ababiziimuula.

President Museveni abyogeredde Jinja bw’abadde ku mikolo egy’okujaguza emyaka 38 bukyanga olutalo lw’ekiyeekera olwaleeta government ya NRM lukomekkerezebwa  nga 26 January mu 1986, netaandika okufuga.

Ku mukolo guno waleteddwa omuzubuka Ssimbwa Moses ategeezezza nti yakozesebwa ab’oludda oluvuganya government mu bikolwa ebikyaamu, omuli n’okuwamba abantu nga bakozesa emmotoka ezakazibwako erya Drone.

Ssimbwa Moses nga yetondera president Museven olw’okukozesebwa ab’oludda oluvuganya okusiiga government ye enziro

Ssimbwa agambye ab’oludda oluvuganya baamutwalako ne Kenya nga bamusuubizza nti bamutwala mu ddwaliro, okutuuka eyo baamulagira kuwa bujulizi mu lukungaana olumu, nti awaayirize government ya NRM bweyamutulugunya.

Bwatyo Museveni yeweze nti siwakukiriza muntu yenna kutabangula mirembe gyeyalwanirira.

President Museveni agumizza abantu ba Busoga nebitundu byeggwanga ebyenjawulo nti government ye yakwongera okukola enguudo, enguudo z’eggaali y’omukka , okuyambako abavubuka okwetandikirawo emirimu  okugoba obwavu.

Agambye nti mu myaka 38 government  ye ebyobulamu ebitaddeko nnyo essira omuli okugema abaana endwadde, wabula nalabula ababba eddagala mu malwariro okukikomya.

Mzee Yoweri  Museveni  azeemu okulabula obukiiko obufuzi obwa masomero ga bonna basome n’abagakulembera  obutakemebwa  kuggya nsimbi ku bazadde nti kubanga government ye yasalawo okusasulira abayizi okusoma  kubwereere mu primary (UPE).

Minister we nsonga zobwa President Milly Babirye Babalanda yetondedde President Yoweri  Museveni olwa Basoga abataamulonda mu kalulu Vvaawo mpitewo    aka 2021, era ono yeyamye nti Busoga yakumuwagira mu kalulu ka 2026

Ku mukolo guno abaliko kyebaakola okuleeta government ya NRM basiimiddwa era nebaweebwa emidaali gibadde 52.

 Bisakiddwa: Ssebuliba Julius