Obukulembeze obw'ennono okwetoloola Uganda bukungubagidde Omukama wa Tooro Rukirabashaija Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV, Omukama gweyayise mu kiro kya nga 28 August,2026.
Mu bubaka obusaasira Obukama bwa Tooro neggwanga okutwaaliza awamu, obufulumiziddwa obukulembeze obwennono obwenjawulo, abakulembeze bagambye nti okuffa kw'Omukama Oyo Kabamba Iguru Owokuna, kkonde ddene nnyo eri obukulembeze obwe Tooro nobukulembeze obwennono obulala mu Uganda.
Obubaka bw'Obwakabaka bwa Buganda buweereddwayo Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, y'omu ku babadde abakuza b'Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV, eyatuuzibwa ku ntebe y'Obukama bwa Tooro nga wa myaka 3 gyokka mu 1995.
Katikkiro asaasidde Abatooro, nategeeza nti ebiruubirirwa byÓbukama bisannyaladde mu kiseera kino olw'okuviibwako Omukama, kyokka naabagumya era naabasaba okusigala nga bali bumu okuvvuunuka ekiseera kino eky'okusoomozebwa.
Obwakyabazinga bwa Busoga bugambye nti Omukama Oyo Kabamba Iguru abadde mukulembeze owembala ow'omulembe guno alengerera ewala, abadde awa abavubuka essuubi.momwetowaze, ow'enkulakulana akoze ennyo okukuuma, okutumbula n'okunyweza ennono ya Tooro.
Obwakyabazinga bunyonyodde nti okuwummula Kw''Omukama Oyo Kabamba Nyimba Iguru Owokuna, kkonde ddene nnyo eri Obukama bwa Toooro, Uganda nensi yonna okutwaaliza awamu olwomukululo gwe gwalese ogugenda okubeerawo emirembe n'emirembe.
Obukama bwa Bunyoro okuyita mu Omuhiikirwa wa Bunyoro nga ye Katikkiro, bukungubagidde nnyo Obukama bwa Tooro olwokuwummula kw'Omukama Oyo.
Omuhikkirwa Owekitinyisa Andrew Byakutaaga Ateenyi agambye nti Obukama bwa Tooro n'Obukama bwa Bunyoro bulina ebibugatta bingi, kale nga okufa kw'Omukuma kkonde ddene nnyo eri Obukulembeze obwennono obubiri.
Obukulembeze obwennono obwa Rwenzururu okuyita mu Omulerembera nga ye Katikkiro wabwo Baritazaale Kule Benson , mu bubaka bwebufulumiza obukubagiza Obukama bwa Tooro, bagambye nti amawulire g'okufa kw'Omubaka Oyo Nyimba Kabamba Iguru gasannyaliza ebendobendo lya Rwenzori, Uganda nensi yonna okutwaaliza awamu.
Omulerembera wa Rwenzururu Baritazaale Kule Benson agambye nti Omukama Oyo Nyimba Iguru Owokuna agenda kujjukirwa emirembe n'emirembe olw'enkulakulana, okulwanirira abantu be, okukuuma n'okunyweeza ennono yabatooro, nokukulakulanya Obukama bwa Tooro naddala okuyita mu bulambuzi.
Omulerembera Hon.Baritazaale Kule Benson anyonyodde nti okufa kwomukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru kulese eddibu ddene nyo mu bukulembeze obw'ennono mu ggwanga lyonna, kwekusaba Omutonzi aggumye Obukama bwa Tooro, olulyo olulangira, Ababiito bonna gyebali n'eggwanga okutwaliza awamu.
Akakiiko k'eggwaanga akalwanirizi k'eddembe lyobuntu ka Uganda Human Rights Commission kasaasidde Obukama bwa Tooro n'eggwanga okutwaliza awamu, olw'okufa kw'Omukama Oyo, gwekoogeddeko nga omukulembeze abadde alwanirira abantu be bakulembera, nga eddoboozi lye libadde liwulirwa.
Commissioner wakakiiko kano Cryspin Kaheru, agambye nti akakiiko k'eddembe ly'obuntu kabadde keenyumiriza nnyo mu mukama wa Tooro olw'amaanyi gabadde ateeka mu kulwanirira ensonga eziruma abantu be, okulwanirira enkulakulana, ennono nebirala ebituusiza Obukama obwa Tooro webuli olwaleero.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment