Ministry y'ebyobulimi, obulunzi nobuvubi etegeezezza nti ssiyakugabira balimi nsigo n'endokwa mu mwaka gw'ebyensimbi guno 2026/2027.

Ministry  egambye nti embalirira gyeyalina eyali ekola ku nteekateeka eno, eyayisibwanga mu bitongole okwali  NAADS, Operation wealth Creation n'ebirala zaggyibwawo nezitwalibwa mu nteekateeka ya Parish Development model.

Omuteesiteesi omukulu mu ministry y'ebyobulimi obulunzi n'obuvubi Brigadier General David Kasura agambye nti abantu balina kugendamu bibiina bya PDM beewoleyo ensimbi bagulire ensigo n'endokwa, ate ku birime byebaba bakungudde beeyigirize okutereka ensigo, ate bakomye okwonoona obutonde bwensi obuvuddeko ekyeya.


Ministry yebyobulimi okwogera bweti kiddiridde  abakulembeze mu bendobendo lye Masaka nga bakulembeddwamu Ssentebe wa district ye Masaka John Kakande okusaba ministry okubadduukira n'ensigo, olw'ekyeya ekibakosezza ennyo n'ekikaza ebirime.



Kinnajjukirwa nti emyaka 6 egiyise, government yakyuusakyuusa mu nteekateeka yaayo ey'emirimu, ensimbi ezaali zigenda mu bitongole okuli NAADS, Youth Livelihood fund, UWEP, OWC nendala  ezaali zigenda obuteterevu eri abantu, ensimbi ezo nezisindiika mu nteekateeka ya Parish Development model nti bannansi abazeetaaga gyebaba bazisanga okwekulaakulanya.

Wabula wiiki 3 eziyise, minister webyobulimi nobulunzi Frank Kajiiji Tumwebaze, yasinziira mu parliament naagamba nti ekyokugyawo ensimbi ezaaguliranga abantu ensigo n'endokwa,ensimbi nezisindiikibw myu parish Development model yali nsobi eyetaaga okutereeza

Minister Frank Tumwebaze yategeeza nti enzirukanya  yenteeateeka ya  Parish Development model tekwatagana bulungi ne season z'okusiga.

Minister yasuubizi nti yali wakugenda eri omukulembeze w'eggwanga okumusaba, ensimbi ezaali zigulira abantu ensigo nendokwa ziggyibwe mu parish Development model zizibweyo mu ministry kisobozese ministry eno okugulira abantu endokwa n'ensigo mu kiseera ky'okusiga


Mu kiseera kino, kiro yebijanjaalo eri wakati wa 6000 ne 5000 songa endokwa zemwaanyi nazo zaalinye mu bitundu bye bendobendo lya Masaka olwekyeeya ekyayokya ebitundu ekyo.#