Ministry y'eby'obulamu etongozza enteekateeka y'okukozesa obunyonyi obutono obuyitibwa Medical Drones, okutambuza eddagala, obuuma obukebera endwadde n'ebintu ebirala bingi ebikozesebwa mu by'obulamu.


Ministry y'eby'obulamu egamba nti ebadde esoomozebwa okwekebejja endwadde mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo, olw'entambula enzibu naddala ku bizinga, mu nsozi newalala ng'entalo. 

Ministry egamba nti ebadde esanga okusoomozebwa kungi okutambuza eddagala ne sample z'endwadde okuva mu bizinga okutuuka e Butabika ewali ekkeberezo ekkulu erya government erya Public Health and National Health Laboratory and Diagnostics services.

Dr. Charles Ayume, minister omubeezi ow'ebyobujjanjabi ebisookerwako mu ministry yebyobulamu, bwabadde atongoza drone esookedde ddala mu nteekateeka eno, agambye nti balina esuubi okufuna Drones endala 4, okuweza omuwendo gwa Drone 5 mu Uganda, okuyambako mu nteekateeka eno.

Agambye nti batandise n'okubangula abakugu abenjawulo abagenda okuyambako mu kuvuga drone zino, baleme okwesigama ennyo ku kampuni zaabazungu ababayambako mu kiseera kino.

Agambye nti tebalina kweralikirira nti zigenda kukozesebwa bubi, era nga baafunye dda olukusa okuva Civil Aviation Authority ne UPDF, olubakkiriza okuvuga Drone.

Dr. Charles Kiyaga, okuva mu kitongole ekivunanyizibwa ku nteekateeka ya Drone zino, agambye nti kino kigenda kukendeeza ne ku budde bwebabadde batwala n'ensimbi okutambuza sample z'endwadde n'eddagala mu bifo ebimu.

Agambye nti Drone eno, esobola okwetikka eddagala eriweza obuzito bwa kiro 15, era ng'etambulira esaawa emu okuva e Butabika okugenda e Kalangala.


Drone esoose okugezesebwa yakutwala eddagala e  Koome ku bizinga bye Mukono, ne Kaala ne Buvuma.


Uganda mu 2019 ng'ekolagana n'ekitongole kya Infectious Disease Institute, (IDI), baatongozaako Drone ezitambuza eddagala lyakawuka akaleeta mukenenya mu bitundu ebizibu okutuukamu, kyokka nti drone zino zaayononebwa ebinnyonyi mu bbanga  olw'okubanga zaali ntono, kati zino ezitongozeddwa nnene zisobola okwetikka obungi bwa kilo 15.

Bisakiddwa: Ddungu Davis