Gavumenti ya Sweden edduukiridde Uganda nÉnsimbi enneewole Trillion 1 nÓbuwumbi 643 nÓbukadde 300 nÓmusobyo, okuzimba ekkungaanyizo lyÁmasannyalaze e Ntinda.

Amasannyalaze gano agaweza Obuzito bwa Kilowatt 400 gagenda kutambuzibwa okuva mu bitundu bye Karuma – Tororo, nga gagenda kuyambako mu kutumbula enkulaakulana yÁmakolero agakola ku byobugagga ebyomuttaka.

Mu mbeera yeemu ensimbi ezo eziweza obukadde bwa Euro 342, zigenda kukozesebwa okuzimba ekifo awatikkulirwa amasannyalaze e Ntinda ,nga gano gaakuba nÓbuzito bwa Killo watt 132.

Bwabadde atema evvuunike lyÓkuzimba ekifo kino nÓkutambuza Waya zÁmasannyalaze e Ntinda , minister wÁmasannyalaze nÓbugagga obwomuttaka Dr Munica Musenero, ategeezezza nti Uganda egenda kwongera okuganyulwa mu byobugagga byaayo ebyomuttaka, kuba bino bigenda kugattibwaako omutindo.

C

Minister Musenero asabye abakulembeze wansi wa gavumenti ezebitundu, okubeera obulindaala eri bannakigwaanyizi abeefunyiridde okubba ebikozesebwa mu kubunyisa Amasannyalaze, kuba bafiiriza nnyo eggwanga.


Omubaka wa Sweden mu Uganda Anna-Maria Olsson, wamu nÁkulira Standard Chartered Bank omugenda okuyisibwa ensimbi Sanjey Rugani, bategeezezza nti enkolagana ya Uganda ne Sweden mu byÁmasannyalaze nÓkugabunyisa eyongedde okunyweera, nebeeyama okula emirimu gyaabwe mu bweerufu.


Omwoogezi wÉkitongole ekibunyisa Amasannyalaze amangi ki Uganda Electricity Transmission company Limited Muhammad Lubogo, ategeezezza nti mu mwaaka 2029 polojekiti eno egenda kuba ewedde, era nga yakwongera ku bungi bwÁmasannyalaze agatambuzibwa mu Uganda.

Bisakiddwa: Kato Denis