Ssaabaminister wa Uganda Robinah Nabbanja atongozza kawefube w’okusengula abantu ababeera mu nsozi ze Bugisu, abayiinza okukosebwa okuyimbulukuka kw'ettaka.

Ssaabaminister Nabbanja atandikidde ku bali mu district ye Namisindwa.

Abantu abagenda okusenguiwa mu kitundu kino bangi kubbo baawebwa sente ezokwekulakulanya eza Parish Development Model, era ssabaminisita Nabbanja aabasiimye nti bazikozesezza bulungi era ng'abasinga baagulamu ente zebalunda.

Ssaabaminister awerekedwako minister w'ebigwa bitalaze Sam Engola, minister wabakozi Simon Mulongo wamu n'ababaka parliament abakiikirira Namisindwa.

Mu ngeri yeemu government yasaawo enkola, buli maka agagenda okusengulwa gaweebwe obukadde bwa shs 18 bazikozese okufuna ettaka mu bitundu ebitali byabulabe


Okunonyereza okwakolebwa wofiisi ya ssaabaminister kulaga nti abantu abasoba mu amaka 13,000 bebawangalira mu bifo ebiri mu bulabe era nga galina okusenguka, government egenda kugasaasanyizaako obuwumbi bwa shs 62 okugasengula, nga buli maka gafuna obukadde 18.

Ettaka okubumbulukuka mu bitundu bye nsozi omuli Olwa Masaaba n'ebitundu bye Rwenzori, neriziika abantu kyafuuka kyamujjirano buli nkuba lw'etonnya ng'omwaka gusemberera okugwako era abantu nebafiiramu.

Bisakiddwa: Musisi John