Ssenkulu wa bank ya Uganda enkulu, Dr Micheal Atingi-Ego, alabudde kampuni ezikola mu byokutereka n'okutambuza ensimbi, okwongera amaanyi mu kutangira abafere abakozesa essimu n'emitimbagano, okubba abantu.

Dr.Michael Atingi-Ego, abadde ku  Marrioti hotel e Nsambya, mu kutongoza ekitebe ne wofiisi ya kampuni ekola kaadi za Visa, ezikozesebwa abantu abatereka ssente mu bank, n'okuzikozesa okugula n'okutunda ebintu mu nkola endigito.

Governor Dr. Atingi-Ego, agambye nti obufere obukolebwa okuyita ku ssimu n'emitimbagano buzze bweyongera mu ggwanga, ng'obuwumbi  bwa shs 245 bwebwabbibwa mu nkola eyo mu nwaka 2023, okutuuka ku buwumbi 412 mu mwaka 2025.

Agambye nti abantu abali mu business entonotono ezikyakula bebasinze okukosebwa embeera eno, sso nga ennaku zino abantu babadde bongedde okujjumbira okutereka ensimbi mu makubo amatuufu.


Mungeri yeemu Governor Dr.Michael Atingi-Ego, agambye nti wakyaliwo okusoomozebwa nti wadde abantu bajjumbidde okutereka ssente, nti naye bangi bakyatambuza ssente mungalo ekibaviirako okubbibwa.

Agambye nti banna Uganda batambuza obuwumbi obusoba mu 326 ku ssimu mu nkola ya Mobile money, nga kitegeeza nti buli luvanyuma lwa ssekonda banna Uganda batambuza obukadde bwa shs 10 ku mobile money. 


Anne Kinuthia Othieno, President wa Kampuni ya VISA East Africa, ne Andrew Rugamba, ssenkulu waayo mu Uganda, bagamba nti okutongoza ekitebe kya kampuni eno mu Uganda, kigendereddemu okwongera okwagazisa banna Uganda okujjumbira enkola y'okutambuza ensimbi mu nkola endigito, okwewala ababbi n'abafere abayinza okubagwikiriza nga batambuza sente enkalu.

Bisakiddwa: Ddungu Davis