Bannauganda abali eyo mu 2,033 bebakanunulwa okuva mu mawanga okuli Cambodia, Myammar ne Loa Peoples' Democratic Republic, gyebaali bakukusiddwa nebatwalibwa nga basuubiziddwa emirimu emisava, wabula nebakwatibwa nebasibwa mu makomera.
Omuwendo guno guli mu alipoota eyanjuddwa Minister omubeezi ow'ensonga z'amawanga amalala Hajji Kyeyune Harunah Kasolo gyayanjulidde parliament.
Alipoota yakoleddwa nga yesigama ku bibalo okuva ku kitebe kya Uganda mu ggwanga lya Malaysia ekikwasanya ensonga z'ensi okuli Thailand, Myanmar ne Lao People's Democratic Republic.
Kuliko 1, 411 abaanunulwa okuva mu ggwanga kya Cambodia, 611 abanunulwa kuva Myammar, 11 banunulwa okuva mu ggwanga lya Lao Peoples Democratic Republic.
Waliwo abaakanunulwa e Cambodia bali 21, era nga bakyabudaabudibwa n'okuteekebwateekebwa bazzibwe ku butaka.
Minister Kyeyune Harunah Kasolo agambye nti bateebereza okusinziira ku bitongole government byekolagana nabyo, nti bannauganda abalala abali wakati we 500 ne 1000 bebali mu makomera gebyalo mu Cambodia.
E Malaysia, bannayuganda abali eyo mu 30 bali mu makomera olwemisango egitali gimu okuli okukukusa enjaga nebiragalalagala ebirala
E Thailand, government ebuulidde parliament nti waliyo bannauganda 3 okuli abasajja 2 n'omukyaala omu abaafiirayo, era government ekola butaweera okufuna ebikwata ku nfa yaabwe n'okukomyawo ebisigalira byabwe ku butaka.
Minister Kasolo abuulidde parliament nti ekitebe kya Uganda e Malaysia mu kibuga Kuala Lumpur, kisaanze okusoomozebwa okufefetta bannauganda abakukusibwa nebatwalibwa eyo, olw'ensonga nti tekirina nsimbi zimala okubanoonya n'okubawa obuyambi singa babeera bazuuliddwa.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment