Government etandise ku nteekateeka ez`okubaga ebbago ly'eteeka eriwa abakuuma ddembe obuyinza okuggya abantu mu mayumba mu budde obw`okuyonja, buli lwamukaaga olusemba mu mwezi, government lweyatongoza okulongoosa eggwanga lyonna.
Etteeka lino livudde ku bantu abagambibwa nti babadde bagufudde mugano okwekweka mu mayumba gabwe nebatayonja bitundu mwebabeera, obudde olugwako olwo nebavaayo nga tebayonjezza.
Ministry y'ebyobulamu yeewereddwa obuvunanyizibwa okukulemberamu okuleeta ebbago ly'eteeka lino.
Minister w'eby'obulamu Dr. Chris Balyomunsi ategezezza nti ebyetagiisa ebisinga obungi byona biwedde okukolebwa, lirinze kwanjulibwa mu lukiiko lwa ba minister.
Ssaabaminister wa Uganda Robinah Nabbanja asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire mu wofiisi ye mu Kampala, gyebatongolezza enteekateeka ezinaagobererwa mu kuyonja kw'omwezi guno nga 31 October,2026 ng'emikolo emikulu giri mu kibuga Lira.
Ssaabaminster agambye nti buvunanyizibwa bwabuli muntu ali mu Uganda okwetaba mu kuyonja kuno.
Ku nsonga ya Kasasiro atuumiibwa ku nguudo ng'abantu bamaze okuyonja, Ssaabaminister awanjagidde abazira kisa abalina ebimotoka, bakwasizeeko government.
Bisakiddwa: Musisi John
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment