Poliisi mu district y’e Nakasongola eri ku muyiggo gw'abatemu abagambibwa okutta omukuumi wa faamu, Inocent Okot nebamunyagako emmundu ye.
Ettemu kino libadde ku kyalo Kikuuta, mu ggombolola y’e Lwabyata mu district ye Nakasongola.
Kigambibwa nti abantu abasoba mu 20 baalumbye faamu mu kiro, nebatta omukuumi abadde akolera mu kampuni ya Axis Warriors.
Omwogezi wa police Sam Twinamasiko agambye nti bakutte abantu 4 bayambeko mu kunoonyereza, era nga n'emmundu ezuuliddwa ng'erimu amasasi 2.
Bisakiddwa: Taaka Conslanta
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment