Ekizimbe ekibadde kizimbibwa kigudde nekiziika abantu, ku kanisa ya Holy City Church eya Brother Ronnie Makabai, esangibwa e Bwerenga mu Town council eye Katabi mu bitundu ebye Ntebe.


Ekizimbe kino kigudde ku saawa nga 11 eyakawungeezi nga 26 October,2026 nga bonna abakoseddwa bateeberezrbwa okuba nga babadde bakozi ku kizimbe ekigudde


 Police n'amaggye geddiza eby'okwerinda mu kifo ekyo n'okuyiikuula ekifunfugu okutaasa abantu.

Akulira Police n'omuntu wa Bulijjo ku kitebe kya Police e Ntebe, Edith Eradikunda agambye nti esaawa yonna bakufulumya alipoota enzijuvu ku  byebazudde ku kabenje kano.


Bisakiddwa: Kakooza GeorgeWilliam