Government kyaddaaki
eggyewo ekkoligo lyeyali yasa ku masomero, nga yali yagayimiriza okuddamu
okutwala abayizi okulambuza abaana ebitundu ebyenjawulo, mu mwezi ogw'omusanvu
ogw'omwaka guno 2026.
Government egamba nti
okulambula kw'abayizi kwakuddamu okutojjera mu lusoma lwa Term ejja 2027.
Wabula amasomero galina
okugoberera amateeka agaateekebwawo ministry y'ebyentambula n'enguudo wamu ne
ministry y'ebyenjigiriza n'emizannyo.
Agamu ku mateeka
agaayisibwa kwekuli;
-Ba dereeva ba mmotoka
ezisaabaza abayizi okuba nga balina obumanyirivu obuvugira ku nguudo abayizi
gyebagenda okulambul.
-Emmotoka okusooka
okwekebejjebwa
-Ba ddereeva okuba
neebiwandiiko ebituufu ebibakkiriza okuvuga emmotoka.
-Obutatikka bayizi
kabindo mu mmotoka.
-Abakulira amasomero
okusooka okwebuuza n'okufuna olukusa okuva mu ministry y'ebyenjigiriza, oba mu
government ez'ebitundu ku bikwata ku bitundu abayizi gyebagenda okulambula.
Minister omubeezi
ow'eby'obulambuzi, Susan Nakawuki, agambye nti mu nsisinkano gyebabaddemu
n'abakulu okuva mu ministry y'ebyobulambuzi n'eyebyenjigiriza, bakkanyizza
okulambula kw'abayizi kuddemu nate, okutandika n'olusoma olujja.
Nakawuki agambye nti
ekiruubirirwa kwekutangira abaana okuddamu okufumu obuzibu, nga bagenze mu
kulambula olw'obulagajjavu bw'abateekateeka okulambula kw'abayizi.
Agambye nti mu
bikaanyizddwako, kwekulaba nti n'okulambula kuteekebwako ekkomo ku saawa abaana
zebatambuzibwako, nga kakano teri kusukka saawa emu eyaakawungeezi ng'abayizi
bakyali mu ngendo.
Amasomero era galagiddwa
nti mu kulambula kuno galina okufumbira abaana emmere ey'okulya,
n'okubalabirira obulungi awatali kwekwasa busongasonga.
Minister Nakawuki
agambye ministry y'ebyenjigiriza egenda kufulumya ekiwandiiko ekyenkomerero ku
nsonga eno.
Government yayimiriza
ebyokulambula oluvanyuma lw'abayizi ab'essomero lya King David Junior
School e Makindye okufiira mu kabenje, mu bitundu bye Kapchorwa, abaana abasoba
mu 20 ne nnyini ssomero tebaasimattuka.
Bisakiddwa: Ddungu Davis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment