Ekibiina ky'ebyobufuzi ki National Peasants party NPP kiyimirizza abadde Ssaabawandiisi wakyo Ssentongo Nnambaale Sharif, nga takkirizibwa kuddamu kukola mulimu gw'akibiina gwonna okumala ebbanga eritali ggere.
Nnambaale asikiziddwa Bruce Muhangi.
President wa NPP, Robert Kasibante asinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire olutudde ku Pope Paul hotel mu Kampala, n'agamba nti Nnambaale takyakkirizibwa kukola mulimu gwonna ku lw'ekibiina.
Omu ku bakulu abatuula ku lukiiko olw'okuntikko olw'ekibiina Wamala Erias ategeezezza CBS nti ebimu ku bivuddeko embeteza, ye Nnambaale okukuta n'ebiina ebirala nga naatandika n'okuteeka emikono egitta emikago , nga tasoose kutegeeza ba member b'ekibiina, okutondawo obukundi mu kibiina okutuukiriza ebigendererwa bye ng'omuntu, n'okulemererwa okulaga obwerufu mu nkozesa y'ensim bi z'akibiina n'ensonga endala.
Wabula CBS bwetuukiridde Nnambaale kubisaliddwawo, agambye nti yakyali Ssaabawandiisi w'ekibiina era naategeea nti ekibiina kirina ssemateeka ayina okugoberwra mu kusalawo ku nsonga wnkulu ng'eyo, era nategeeza nti yeyekka akkirizibwa okutuuza enkiiko z'ekibiina ez'engeri yonna.
Bisakiddwa: Ssekajjiijja Augustus
WAMALA ERIAS Nnambaale kigambibwa nti abadde adibaze ebtambu y'emitimu mu kibiina.
Ono asikiziddwa Bruce Muhangi
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment