Obwakabaka bwa Buganda bulabuddde abantu abakozesa emikutu emitimbagano okuvvoola Okubuvvoola n’okutyoboola Ssabasajja Kabaka okukikomya bunnambiro.
Obwakabaka butegeezza nti waliwo abagufudde omugano nga bayita ku kumitimbagano okwonoona erinnya n’ekitiibwa kya Kabaka, Katikkiro n’abakulembeze abalala mu bwakabaka nga basiga obukyayi n’okusosola mu mawanga, nga balina ekigendererwa eky’okunafuya n’okukyaya Buganda.
Minister w’amawulire, okukunga abantu era Omwogezi w’o bwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke asinzidde ku mbuga enkulu mu Bulange e Mengo mu kwogerako eri bannamawulire, nalabula bonna ebereega mu bwakabaka nti balye kamanye ng’akoza nowebbwa , nti kubanga Obwakabaka sibwakusirika naddala ku batyoboola Nnamulondo.
Mu mbeera yeemu Isreal Kazibwe Kitooke ategeezza nti oluvanyuma lwobwakaba okwekubira enduulu eri ekitongole ekinonyereeza ku buzzi bwemisango mu ggwanga ki CID, abeby’okwerinda baanoonyereezza era nebakwata omuvubuka Musana Ibrahim eyeyita Pressure abadde yefudde mmo mu kutyoboola obwakabaka.
Owek. Isreal Kazibwe asabye abantu mu Buganda obutaterebuka olw’abantu abasaasanya obulimba ku Buganda ,wabula basigale bumu ku kukuuma n’okutaassa Nnamulondo saako okukulakulanya Buganda.
mu ngeri yeemu omwogezi wa police Fred Enanga ategezezza nti bakakungaanya obutambi obusoba mu 50 obulumika omuvubuka Musana Ibrahim, avunaanibwa okukozesa obubi omutimbagano návvoola Ssaabasajja Kabaka.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius