Leero ennaku z’omwezi 06 February,2024, giweze emyaka 43 bukyanga eggye Lya UPDF ligunjibwawo.

Ebikujjuko by’olunaku lw’amagye ebimabyiddwa nga Tarehe Sita bitegekeddwa mu District ye Bugweri.

Abayeekera ba National Resistance Army abaali   baduumirwa Yoweri Museveni  besogga ensiko nga  6 february 1981.

Ku lunaku luno kwebaatanula olutalo olw’okutwala obuyinza okuva  ku  government eyaliko  ebiseera  ebyo, omwava eggye lyebaatuuma National Resistance Army,  oluvanyuma   eggye lino nelifuulibwa Uganda Peoples Defence Force –UPDF

Omuduumizi wa UPDF Gen Wilson  Mbasu Mbadi   agamba nti okuva UPDF lweyatondebwawo esobodde okuweereza banna uganda awatali kusosola , okukuuma obutebenkevu mu ggwanga n’amawanga amalala  , okusomesa abasirikale nookubawa obukugu mu bintu ebyenjawulo.

Bisakiddwa: Ssebuliba Julius