President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa alangiridde ennaku 3 ezokukungabira Omukama wa Tooro Rukirabasaija Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV eyavudde mu bulamu bw'ensi.

President alagidde nti mu nnaku ezo essatu bendera w'eggwanga zonna ku Uganda n'ebitebe bya Uganda mu mawanga amalala zakwewuubira mu makati g'emirongooti.

Ennaku zino esatu kuliko Olunaku oluddirira olw'okuziika, olunaku lw'okuziika n'okuddako ng'okuziika kuwedde.

Museveni era eragidde government ye okukola ku nteekateeka zokukomyawo omubiri gwa Oyo, okukungubaga n'okuziika Omukama wakati mu kulungamizibwa n'okutambulira awamu N'obukama bwa Tooro .

Museveni mu bubaka bwafulumizza obukungubagiza Obukama bwa Tooro olw'okufiirwa Omukama Oyo Nyimba Iguru, agambye nti obulamu buno SSI bwenkanya wadde, nti kubanga Omukama Oyo Kati omugenzi yafuuka mulekwa nga bbujje, kyokka era afudde muto nnyo ku myaka 34 gyokka.

Agambye nti mu myaka emitono Omukama Oyo gwabadde kunsi akozesezza nnyo obukulembeze bwe okukolera awamu ne government eyawakati, saako government ez'ebitundu okukulakulanya Obukama bwa Tooro.

President Museveni annyonyodde nti gyebuvuddeko Omugo wa Tooro Best Kemigisa  nga ye maama wa Omukama Oyo Kabamba Iguru ,yamutuukirira  namutegeeza nti Omukama yalina ekirwadde kya kookoola era nti kyali kikulira ku misinde mingi.

Government ye yasalawo okukwatirako Obukama bwa Tooro okutwala Omukama mu ggwanga lya German ne America okujanjabwa, wabula teyasobodde kuwona.

President agambye nti eky'omukisa okiriwo, Omugo Best Kemigisha nga ye maama womugenzi , yamutegeezeza nti Omukama Oyo yalese omulangira asuubirwa okulagibwa eri ensi mu kiseera ekitali kyewala.

Bwatyo asaasidde nnyo Obukama bwa Tooro ne Uganda okutwaaliza awamu olw'okufiirwa kuno.